Omulamuzi alidde waaya ku by’okutta Kaweesi, ayisizza ekiragiro ekikambwe akawungeezi ka leero era kati kiwedde.
Kkooti enkulu mu Kampala eragidde ekitongole ky’amakkomera okuleeta mu kkooti abakwate babiri (2) abali mu kkomera ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.
Kaweesi yattibwa n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva we Godfrey Mambewa nga 17, March, 2017 e Kulambiro mu Nakawa mu disitulikiti y’e Kampala.
Abantu munaana (8) bakwattibwa ne bagulwako emisango gy’obutemu oluvanyuma ne bayimbulwa kakalu ka kkooti kyokka abakwate babiri (2) Abdul Rashid Mbaziira ne Aramathan Noordin Higenyi bakyali mu kkomera e Luzira ku misango gy’okwenyigira mu kukusa abaana.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Mbaziira, Higenyi ne banaabwe abaliira ku nsiko wakati wa 2016 ne March, 19, 2017 mu disitulikiti y’e Busia, bawamba abaana mukaaga (6) ne babatwala ne babakweka mu disitulikiti y’e Mukono.
Ku baana mukaaga (6), basatu (3) baali mu myaka 3 omuli n’omuwala omu (1) ate abalala baali balenzi wakati w’emyaka omunaana (8) ne 11.
Omukaaga (6) abayimbulwa kkooti ku by’okutta Kaweesi kuliko Bruhan Balyejusa, Shafiq Kasujja, Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango, Joshua Kyambadde ne Yusuf Mugerwa era enkya ya leero bakedde kweyanjula mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Duncan Gaswaga.
Wabula munnamateeka w’abakwate Kwemara Kafuuzi agambye nti abantu be Mbaziira ne Higenyi, abakulu mu kitongole ky’amakkomera bakyagaanye okubaleeta mu kkooti ate nga bafuna okutegeezebwa.
Mungeri y’emu agambye nti abasibe bagaana okweyambisa enkola ya ‘videoconferencing’ okwewozaako kyokka okugaana okubaleeta mu kkooti, kityoboola eddembe lyabwe.
Amangu ddala, omulamuzi Gaswaga alagidde ekitongole ky’amakkomera okuleeta Mbaziira ne Higenyi mu kkooti okuva nga 10-14, May, 2021 okutandiika okwewozaako.
Kinnajjukirwa nti oluvanyuma lwa Kaweesi okuttibwa, ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu abasukka 50 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusingira ddala mu bitundu bya Kampala ku misango gy’obutemu, okubisa eryanyi n’obutujju.
Wabula mu kkooti, baatwalayo abantu 23 bokka omuli n’omunaana (8) abasindikibwa mu kkooti e Nakawa kyokka abalala baayimbulwa era kati kiwedde omulamuzi abiyingiddemu.