Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, yegasse ku bannayuganda bonna okungubaga olw’okufa kwa Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
Bobi Wine agamba nti Ssaabasumba Lwanga abadde ddoboozi ku bantu abanyigirizibwa kyokka kyewunyisa nti yafudde mu ngeri etategerekeka.
Bobi Wine asinzidde ku Lutiiko e Lubaga oluvanyuma lw’ekitambiro ky’emissa, okusaba bannayuganda bonna okumwegatako okusaba Gavumenti alipoota ku kyavuddeko Ssaabasumba Lwanga okufa.
Munngeri y’emu agambye nti enfa ya Ssaabasumba Lwanga yefaananyirizaako ey’omugenzi Dr. Anas Kaliisa, Sheikh Nuhu Muzaata n’abalala.
Bobi era asabye bannadiini okulabira ku mugenzi Ssaabasumba Lwanga okuvangayo ku nsonga ezinyigiriza abantu nga tewali kutya wadde okutisibwatiisibwa.
Ebigambo bye mu Kereziya enkya ya leero, byefanaanyirizaako byeyatadde ku kibanja kya Face Book ng’agamba nti omugenzi abadde musaale ku nsonga ezinyigiriza abantu omuli n’okusaba Gavumenti okuyimbula abantu bonna abazze bawambibwa kyokka yegasse ku bantu abazze bafa mu ngeri atategerekeka, “ It is a dark day for the Catholic Church. It is a dark day for Uganda. I have learnt with great shock about the sudden death of His Grace Dr. Cyprian Kizito Lwanga, the Archbishop of Kampala Archdiocese. It will be very hard to cope with this unimaginable loss. He will be remembered for always speaking out against injustice and oppression. Only yesterday as he joined the faithful to celebrate the way of the cross, he raised his voice yet again and condemned the rampant abductions of our people by the state. Archbishop Lwanga joins several other eminent outspoken religious leaders who have recently died under very unclear circumstances. May the Lord receive his gentle soul in heaven“.
Wabula okusinzira ku entekateeka y’okuziika Ssaabasumba Lwanga, enkya ku Mmande nga 5, April, 2021 ku ssaawa 4 ez’okumakya ku Lutiiko e Lubaga, bategese okusaba okwenjawulo nga tebalina mulambo.
Ku lunnaku Olwokubiri nga 6, April, 2021, omulambo gugenda kugibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago, gutwalibwe mu maka ga bazadde be ku kyalo Kyabakadde ku luguudo lwe Gayaza.
Ku ssaawa 4 ez’okumakya, bategese okusabira omwoyo gw’omugenzi ate omulambo gugenda kusulayo.
Mu ngeri y’emu Pulogulamu eraga nti ku Lwokusatu nga 7, April, 2021, omulambo gugenda kutwalibwa ku Lutiiko e Lubaga era ku ssaawa 4 ez’okumakya, baddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi ssaako n’abantu okufuna omukisa okukuba eriiso evanyuma ku mulambo.
Entekateeka eraga nti Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga agenda kuziikibwa ku Lwokuna e Lubaga okumpi ne Lutiiko ng’ekitambiro kya Mmisa kyakutandiika ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Tukitegeddeko nti Pulogulamu y’okuziika Lwanga esindikiddwa eri Paapa Francis era y’emu ku nsonga lwaki bagisuubira nti eyinza okukyukamu.
Ebirala ebisingawo. https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1191570207969399