Omukulembeze w’eggwanga erya Malawi Lazarus Chakwera agobye abakungu mu Gavumenti ssaako ne minisita w’abakozi Ken Kandodo lwa kubulankanya ssente ez’okulwanyisa Covid-19.

Pulezidenti agamba nti mu lipoota eyavudde mu kubala ebitabo, ku ssente ezisukka mu 6 eza Malawi ezamanyiddwa nga kwacha waliwo ezabulankanyizibwa.

Kigambibwa Minisita yaddira ssente ezirina okuyambako mu kulwanyisa obulwadde ezisukka mitwalo 60, okuzitambulamu okukyala mu South Africa.

Pulezidenti agamba nti wadde Minisita yakomyawo ensimbi, zeyasasaanya, amakulu gaali gaweddewo nga yazitwala nga tafunye lukusa, ekintu ekimenya amateeka.

Wabula Poliisi egamba nti erina abasibe 19 abali ku misango gy’okubulankanya ensimbi za Covid-19.

Ate ye Minisita Kandodo eyagobeddwa, agamba nti yewunyiza mukama we okumugoba ate nga musajja abadde mwerufu nga ne ssente zeyatwala, yali yazikomyawo.

Ate mu ggwanga erya Egypt, Minisitule y’ebyobulamu egamba nti abantu 11 bebakafa ate 98 bakyali mu mbeera olw’akabenje k’eggaali y’omukka.
Kigambibwa eggaali y’omukka yavudde ku kkubo lyayo, ekyavuddeko akabenje, akawungeezi k’awungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande.
Eggaali y’omukka yabadde eva mu kibuga Cairo okudda mu kibuga Nile Delta mu bitundu bye Mansoura.
Mu kiseera kino ebitongole ebikuuma ddembe byongedde amaanyi okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje.

Mu ggwanga erya Nigeria abantu musanvu (7) bafudde nga kivudde ku kimotoka ky’amafuta okukwata omuliro.
Ekimotoka kyagudde mu bitundu bye Oshigbudu mu ssaza lye Benue.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440