Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku batemu abakedde okulumba Gen Katumba Wamala enkya ya leero.
Gen. Katumba eyali adduumira amaggye mu ggwanga era abadde Minisita w’ebyenguudo n’entambula, akubiddwa amasasi enkya ya leero ku ssaawa nga 2 ez’okumakya ku luguudo lwe lwe Kisasi-Kisota.
Gen. Katumba wadde asimattuse okuttibwa, muwala we Brenda Nantongo myaka 26 ne ddereeva we Haruna Kayondo bafiiriddewo.
Wabula Poliisi efulumizza akatambi akalaga abasajja abagambibwa okuba nga beebakoze obulumbaganyi ku Gen Katumba.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Katambi kagiddwa ku kkamera ezimu ku ziri ku nguudo era asabye abatuuze okuyambagana okuzuula abatemu.
Okunoonyereza, kulaga nti abatemu babadde ku Pikipiki bbiri (2) era babadde bana (4) nga mu kiseera kino, okunoonyereza kugenda mu maaso era Poliisi yegatiddwako ekitongole ky’amaggye.
Pulezidenti Museveni ayogedde!
Ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asuubiza okunoonya abatemu abenyigidde mu kutta abantu (2) ssaako n’okwagala okutta Gen Katumba.
Ku mukutum ogwa Twitter, Museveni agamba nti abatemu, ’embizzi’ abatawa bulamu kitiibwa, baviiriddeko okutta abantu babiri (2) okuli muwala wa Gen. Katumba Brenda Nantongo ssaako ne ddereeva we Haruna Kayondo.
Mungeri y’emu agamba nti wadde omukuumi, asobodde okutaasa Gen. Katumba olw’okukuba amasasi mu bbanga, abadde alina okutta abatemu, okusinga okubakaanga okudduka.
Museveni asuubiza okunoonya abatemu bakwattibwe n’okubalwanyisa nga bwe kibadde emyaka egiyise.
Wakati mu kunoonyereza, Museveni agamba nti waliwo ebituukiddwako ku batemu abakoze obulumbaganyi ku Gen Katumba Wamala era agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda.
Museveni era agamba nti Gavumenti ye, egenda kweyambisa tekinologye, mu kulwanyisa abantu abakyamu abasukkiridde okweyambisa pikipiki n’emmotoka mu kuzza ebikolobero.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/538504250654867