Boniface Muchunguzi myaka 25, eyasimatuse okuttibwa, kuwandagaza amasasi agaabadde gagendereddwamu okutta eyali omuddumizi w’amagye mu ggwanga Gen. Katumba Wamala ali mu mbeera mbi nga yetaaga buyambi.

Gen. Katumba yalumbiddwa, abatemu abatamanyiddwa okuttibwa ku Lwokubiri ku makya e Kisaasi ku luguudo lwa Kisota.

Mu bulumbaganyi, muwala we Brenda Nantongo ssaako ne ddereeva we Haruna Kayondo battiddwa wabula ekirungi Gen. Katumba wadde yakubiddwa amasasi ku mikono, yasobodde okusimatuka ssaako n’omukuumi we Sgt. Khalid Koboyoit.

Mu kuwandagaza amasasi, omu ku batuuze Muchunguzi ku myaka 25 yakubiddwa essasi mu kugulu nga mu kiseera kino, ali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Muchunguzi eyakubiddwa essasi

Muchunguzi agamba nti mutunzi wa Baatule nga yakubiddwa essasi, bwe yabadde ali ku mulimu gwa mukama we.

Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti essasi lyamukutte omugulu ogwa ddyo era yavuddemu omusaayi nga tamanyi kimutuseeko.

Muchunguzi agamba nti mu ddwaaliro e Mulago, yatwaliddwayo Ambulensi, eyabadde eyitiddwa okutwala Gen. Katumba mu ddwaaliro bwe yabadde akubiddwa amasasi.

Alipoota y’abasawo mu ddwaaliro e Mulago eraga nti essasi lyamenye Muchunguzi eggumba nga y’emu ku nsonga lwaki yetaaga okuyambibwa, okusobola okufuna obujanjabi.

Muchunguzi eyakubiddwa

Gen Katumba alaga engeri gye yasimatuse amasasi!
Gen. Katumba agamba nti abatemu batandiise okukuba emmotoka amasasi era mu kusooka yabadde amannyi waliwo Pikipiki ebatomedde.
Agamba nti okuzuula nti masasi, muwala we Brenda yabadde akubiddwa era bwe yabadde agenda okufa yagambye nti ‘Jesus’.
Katumba agamba nti yagudde wansi mu ntebe okutaasa obulamu kyokka oluvanyuma yasobodde okufuna, obuvumu okuggulawo oluggi lw’emmotoka okusobola okwetaasa kyokka muwala we Brenda yabadde amaze okufa ne ddereeva Haruna.
Katumba yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Malcolm e Kisasi okufuna obujanjabi obusookerwako oluvanyuma bamwongeddeyo ku Medipal International Hospital mu Kampala okulongosebwa kuba yabadde akubiddwa amasasi ku mikono.
Abatemu basse muwala wa Katumba Branda ne ddereeva we Kayondo kyokka omukuumi we Sgt. Khalid Koboyoit teyafunye kisago kyonna.

Mu kiseera kino Poliisi ekyanoonya abatemu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/146133747551408