Wuuno Omuyizi we Makerere omulwadde wa Covid-19!
Abamu ku bayizi ku Yunivasite e Makerere bakyatubidde mu zi Hostel olw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuggala amassomero ssaako n’amatendekero agawaggulu, okumala ennaku 42.
Akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, Museveni yaggaddewo okuva ku Mmande ya sabiiti eno, ng’emu ku ngeri y’okutangira okutambuza Covid-19.
Kati no, abayizi abasangiddwa mu zi Hostel, bagamba nti bandyagadde okudda awaka, naye ssente zebyentambula zasukkiridde okulinya nga n’abamu, tebalina wadde 100 okudda awaka.
Omu ku bayizi Masai Damian, agamba nti Hostel ye Messiah hostel mu Kikumi Kikumi bagenda kugigala, kyokka wadde yafunye Covid-19, agenda kutambula ye, kyokka akyatidde okumutwalira bazadde be.
Ate Daniel Habasa, omu ku bayizi abasula mu J.J hostel agamba nti okulinyisa ssente z’ebyentambula, y’emu ku nsonga lwaki bakyalemeddwa okudda awaka.
Habasa agamba nti Gavumenti yandibadde eteekewo engeri y’okuyamba abayzi ku Yunivasite okudda awaka ku bbeeyi ensamusamu.
Ate Michael Gidudu agamba nti yandyagadde okuddayo awaka e Mbale kuba Hostel egenda kuggalwa, wabula ssente z’ebyentambula zakubisiddwamu emirundi 2 era y’emu ku nsonga lwaki akyalemeddwa okuddayo awaka.
Mungeri y’emu agamba nti mu Hostel amazzi gagiddwako era balagiddwa okudda awaka.
Ate Ritah Mukisa omu ku bayizi abawala abasula Kasamba Girls agamba nti wadde Yunivasite yagaddwa, agenda kusigala mu Hostel olwa ssente okulinyisibwa nga n’abantu abangi abadda awaka ate bayinza okutambuza obulwadde.
Ate Poliisi y’e Kabale ekutte abantu 23 ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19.
Abamu ku bakwate, basangiddwa mu bbaala, abalala nga bali mu kutambula mu ssaawa za Kafyu.
Mu kikwekweeto ne Pikipiki 30 zakwatiddwa, olw’okusangibwa ku kkubo, okusukka essaawa 12 ez’akawungeezi.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti wakati mu kulinda Gavumenti okuteekawo ‘Fayini’ ku bantu abakwattiddwa, abakwate bagenda kubatwala mu kkooti.
Abamu ku bakwattiddwa kuliko Besigye Posiano, Nagawa Bosco, Mumbere Gift, Kansime Lydia, Twine John n’abalala.
Maate agamba nti ebikwekweeto byeyongedde okunoonya abantu bonna abalemeddeko okumenya amateeka mu kiseera kino eky’okulwanyisa obulwadde mu ggwanga.
Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/157682972940714