Kyaddaki munnakatemba Alex Muhangi alangiridde entekateeka z’okukuba mukyala we Prim Asiimwe embaga.
Muhangi ne Prim balina omwana omu ali mu gy’obukulu 6 era bambi ebintu bitambula bulungi wakati waabwe.
Prim, mukozi ku 100.2 Galaxy FM mu Evening Rush era y’omu ku bawala abalabika obulungi mu Kampala nga ne Muhangi wadde musajja munnakatemba, ye nannyini kutandikawo Comedy Store, okuyambako mu kutumbula talenti mu Uganda.

Prim

Enkya ya leero, Muhangi abadde ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Morning Saga era bw’abuuziddwa eky’okuwasa mukyala we Prim, awadde abantu enseko.

Muhangi ku Galaxy Fm

Enkya ya leero, Muhangi abadde ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Morning Saga era bw’abuuziddwa eky’okuwasa mukyala we Prim, awadde abantu enseko.

Eddoboozi lya Muhangi

Muhangi mu ngeri y’emu agambye nti ye muntu w’abantu, ng’alina okuyita abantu bangi ku mbaga ye.
Agamba nti olwa Covid-19, tayinza kutekateeka mukolo kuba tebakkiriza bantu kungaana nga kiyinza okutambuza obulwadde.
Agamba nti alina essuubi okutwala embaga mu kisawe e Namboole nga buli muntu yenna ayingira, alina okusasula ssente.

Muhangi ku mbaga

Ebiragiro bya Pulezidenti!
Wakati mu kulwanyisa Covid-19, Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni yateekawo obukwakulizo obwenjawulo okutangira Covid-19 okusasaana.

Pulezidenti Museveni

Museveni agamba nti omuntu yenna alina embaga, talina kusukka bantu 20 mu kiseera kino.
Ebiragiro bya Museveni, bangi ku bantu bayimirizza emikolo gyabwe omuli n’okugyongezaayo.
Olunnaku olwaleero ku Lwokutaano nga 18, June, 2021, Pulezidenti Museveni agenda kwogerako eri eggwanga ku nsonga ez’enjawulo n’okusingira ddala eza Covid-19 kyokka waliwo okutya ku bannansi nti Pulezidenti ayinza okusalawo okuzza abantu ku muggalo.

Embeera mu ggwanga!
Embeera y’obulwadde mu ggwanga eyongedde okwelalikiriza olw’abantu abazuulibwa nga balwadde buli lunnaku n’okufa.
Uganda yakazuula abantu 67,215 abalwadde ate yakafiisa 542.

Dr. Jane Ruth Aceng

Okusinzira ku Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng myaka 53, Uganda mu kiseera kino erina ekizibu ky’omukka gwa ‘oxygen’ mu malwaliro, ekiyinza okuviirako abantu bangi okufa.
Minisita Aceng agamba nti abalwadde beyongedde obungi era ayongedde okusaba bannayuganda okwongera okwekuuma kuba embeera eri mu malwaliro eyongedde okweralikiriza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/124551269719944