Omuntu ow’okubiri agambibwa okwenyigira mu kukola obulumbaganyi ku Minisita w’emirimu n’entambula Gen. Katumba Wamala, Mustafa Kawawa Ramadhan  yakubiddwa amasasi era yattiddwa ebitongole ebikuuma ddembe.

Mustafa Kawawa Ramadhan abadde yeeyita Amin yattiddwa ku lunnaku Olwokutaano nga 2, July, 2021.

Katumba lwe yalumbibwa

Okusinzira kw’amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Maj Gen. Paul Lokech, Mustafah yakubidwa amasasi agaamutiddewo bwe yabadde agezaako okutoloka ku basirikale abaabadde bamututte okuzuula emmundu okuva mu maka ga Juma Seid e Kanyogoga mu muluka gwe Bukasa mu divizoni y’e Makindye.

Gen. Lokeck ng’alaga emmundu

Kinnajjukirwa nti ku lunnaku Olwokuna nga 1, July, 2021 Maj Gen Lokech yagambye nti basse omu ku batemu Hussein Lubwama amanyikiddwa nga Master bwe yabadde agezaako okulwanyisa abasirikale.

Maj Gen Lokech agamba nti Master yeyafulumya amasasi mu bulumbaganyi bwa Gen. Katumba nga 1, June, 2021 mwe battira muwala wa Gen. Katumba, Brenda Nantongo ne ddereeva we Haruna Kayondo.

Mu kiseera kino ebitongole byokwerinda byakatta abantu 2 omuli Mustafah ne Master.

Lokeck ng’alaga Pisito

Maj Gen Lokech agamba nti nga Master bwe yabadde tannatibwa, yasobodde okutegeeza ab’ebyokwerinda emmundu gye bazitereka.

Mungeri y’emu agamba nti ne Kawawa nga tannattibwa, naye yabadde amaze okutegeeza ab’ebyokwerinda nti emmundu yagikwasizza Juma Sserwadda omusiisi wa Chapati Namuwongo.

Oluvanyuma lwa Sserwadda okukwattibwa, yagambye nti emmundu yaziwadde Juma Seid era zazuuliddwa mu kayumba k’enkoko e Makindye nga mulimu AK47 bbiri (2) ne Pisito emu (1).

Mu maka ga Juma Seid, wazuuliddwayo n’ebintu ebirala omuli Jaketi ya Kachungwa, Helementi nga bikwekeddwa mu siriingi era kigambibwa mu kulumba Gen. Katumba, owa bodaboda eyali avuga ‘Master’ bwe yali ayambadde.

Lokeck ng’alaga bannamawulire

Mu bikwekweeto okuzuula abakola obulumbaganyi ku Gen Katumba Wamala, abakwate bali 4, abaakattibwa 2, abanoonyezebwa 2.

Lokech agamba nti abatemu, basibuka mu kabinja k’abatujju aka Allied Democratic Forces (ADF) era mukama waabwe Shiek Obadia yadduse nga mu kiseera kino ayinza okuba akyali mu Uganda oba nga yaddukidde mu ggwanga lya Democratic Republic of the Congo.

Lokech era agamba nti akabinja k’abatujju kano, bebaakola obulumbaganyi ku Cheap Hard Ware e Nansana mu 2019 ne batta abantu basatu (3), okutta abantu ab’enjawulo omuli Maj. Muhammad Kiggundu e Masanafu mu 2016.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901

Bya Nalule Aminah