Bamalaaya mu bitundu bye Mombasa mu ggwanga erya Kenya balangiridde okwekalakaasa nga bawakanya ebbula lya Kondomu mu malwaliro ga Gavumenti.
Mu kwogerako eri bannamawulire, bagamba nti Kondomu okubula, kibatadde mu buzibu bw’okulwala endwadde z’obukaba omuli mukenenya.
Banno nga bakulembeddwamu Maryline Lain, bagamba nti Gavumenti egamba nti balina okufuna Kondomu ku bwereere kyokka malwaliro teziriiyo, “If nothing changes by the end of tomorrow, we are moving to the streets. Condoms are being distributed by the government for free, but why don’t we get them“.
Mungeri y’emu Maryline agamba nti basisinkanye abakulu mu Gavumenti okubawa Kondomu kyokka tewali kikolebwa, ekintu ekiyinza okwongera okutambuza obulwadde, “We have held a series of meetings with the relevant offices but as we speak they have not been providing us with condoms and as you are aware using condoms properly and consistently reduces risk of contracting HIV“.
Wabula akulira okulwanyisa okusasaanya akawuka ka siriimu Omari Mwanjuma, asabye Bamalaaya okuyimiriza enteekateeka z’okwekalakaasa okubanja Kondomu.
Mwanjuma agamba nti kondomu mweziri mu malwaliro kyokka tezimala bwogerageranya omuwendo gw’abantu abazetaaga, “I’m aware that there are stocks of condoms in all health facilities however in limited numbers“.
Mu ggwanga erya Kenya, abawala abato beyongedde okwetunda nga kivudde ku bbula ly’emirimu.
Abawala abali mu bw’amalaaya bali wakati w’emyaka 18-30 wadde mu Kenya, okwetunda kimenya mateeka.
Wadde benyigidde mu kwetunda ku myaka emigo, bagamba nti Kondomu zeziyinza okubayamba okwetangira okulwala endwadde z’obukaba.
Omu ku Bamalaaya nga yeeyita Nic, agamba nti abasajja bangi balwadde ate balina ekigendererwa eky’okutambuza obulwadde.
Nic agamba nti Kondomu okubula, kyongedde okusanyalaza emirimu gyabwe nga batya okulwala ate betaaga ssente era bangi ku baana abawala, bakkiriza okwegata n’abasajja nga tewali kondomu kuba banoonya ssente okutambuza obulamu.
Bagamba singa Kondomu zeyongera okubula, abasajja bangi bagenda kulwala n’okutambuza obulwadde, ekigenda okuviirako obulwadde obweyongera okutambula mu ggwanga.
Mu kiseera kino, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo mu Kenya, Bamalaaya beyongedde, nga kivudde ku nsonga ez’enjawulo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3010012742616919