Poliisi y’e Lugazi ekoze ekikwekweeto mwekwatidde abantu 71 abasangiddwa mu bbaala ssaako Loogi nga bali mu kwesanyusa.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yaggala ebbala wakati mu kulwanyisa Covid-19 era mu kikwekweeto, abakwattiddwa mulimu abasajja n’abakyala.

Hellen Butoto, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa agamba nti ekikwekweeto kyakoleddwa ku ssaawa nga 8:30PM (ez’ekiro) oluvanyuma lw’abatuuze okubatemyako.

Mu bakwate kuliko abakyala 10, nnanyini bbaala ssaako abakyala agambibwa okutunda akaboozi.

Wabula abamu ku basirikale bakubiddwa abadigize amayinja era mu kiseera kino bali mu ddwaaliro e Kawolo.

Kigambibwa abamu babadde bali mu kaboozi nga bavudde mu mbeera olwa Poliisi okubalemesa okutuuka ku ntikko ne basalawo okukuba abasirikale amayinja.

Poliisi egamba nti waliwo omusajja omulala eyakwattiddwa ng’alina ejjambiya kyokka ye yasangiddwa okumpi ne bbaala ssaako ne Loogi era ye ensonga ze, zikwatiddwa mu ngeri yanjawulo.

Pulezizenti Museveni bwe yali ayogerako eri eggwanga, yalagira nti ebbaala yonna singa esangibwa nga nzigule, balina okugigyako layisinsi.

Emmundu eyali yabibwa ku musirikale w’ekitongole ky’amakkomera nga 4, omwezi guno Ogwomusanvu, ezuuliddwa mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi y’e Iganga nga yegatiddwako abatuuze.

Emmundu ekika kya AK 47 namba 565824458 AKM 40425 yagibwa ku musirikale w’ekitongole ky’amakkomera Iganga.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East Jame Mubi, emmundu yali amasasi 30 ku lunnaku lwe yatwalibwa kyokka okuzuulibwa, musangiddwamu amasasi 22.

Mubi agaanye okwatuukiriza amannya g’omuntu akwattiddwa era agamba nti aliko banne abaludde nga bateeka emisanvu mu kkubo mungeri emenya amateeka okubba abatuuze.

Emmundu ezuuliddwa

Omukwate atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi y’e Iganga nga Poliisi bw’enoonya banne, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.

Mubi mungeri y’emu agamba nti omukwate ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuto newankubadde kkooti yamukkiriza okweyimirirwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/172813018239465