Omwana Rebecca Nakigwe myaka 16 afiiridde mu nju ya muganzi we gye yageenze akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, nga yesuunga okusinda omukwano olw’obutasoma olw’omuggalo.
Nakigwe asangiddwa nga z’embuyaga ezikunta era Poliisi amangu ddala eyitiddwa, omulambo gwe ne gutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Kigambibwa abadde mu siniya ya kusatu (S3) ku ssomero lya Luweero SDA.
Alipoota y’absawo ku ddwaaliro e Luweero, eraga nti Nakigwe yafudde nga kivudde ku kiziyiro era Poliisi y’e Matugga ekutte abadde muganzi we Niclous Kibuuka myaka 21, okuyambako mu kunoonyereza.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, fayiro y’omusango yakusindikibwa eri omuwaabi wa Gavumenti okuwabula Poliisi ku kiddako.
Ate Ssemaka akwattiddwa ku misango gy’okutta mutabani we nga kivudde ku butakaanya wakati we ne mukyala we.
Omwana Aijuka myaka 9 asaliddwako obulago era omulambo, gwe gusuuliddwa mu nsiko, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.
Ssemaka Vanancio Bainomugisha, omutuuze ku kyalo Nyabigoye mu ggoombolola y’e Nyamarebe mu disitulikiti y’e Ibanda, yavudde mu mbeera olwa mukyala we n’omwana okwekobaana, ne bagaana okuwa ku ssente ezavudde mu kutunda kabalagala.
Bainomugisha yabadde anoonya ssente ez’okunywa ku mwenge, omukyala n’omwana ne bagaana okuzimuwa, ekyamuggye mu mbeera.
Oluvanyuma taata yakutte ejjambiya, omwana namusalako obulago, okutuusa lwe yamusse.
Wabula abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekyalo Godfrey Tabaaro, bagamba nti ssemaka Bainomugisha y’omu ku batuuze abasinga okunywa enjaga ssaako n’okutimpula mukyala we emiggo.
Ku Poliisi, Bainomugisha akkiriza okutta mutabani we era akulira Poliisi y’omu kitundu Boaz Atukwase Tumwine agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza.
Poliisi egamba nti Bainomugisha okutta mutabani we yabadde anywedde enjaga era essaawa yonna wakutwalibwa mu kkooti.
Ate ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board (UNEB) kifundikidde entekateeka zonna, okufulumya ebigezo by’abayizi aba S4 eby’omwaka 2020.
Ebigezo byakufulumizibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano nga 30, omwezi guno Ogwomusanvu, 2021 mu State House e Nakasero mu ngeri ya ‘Science’ wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Omwaka 2020, abayizi 333,889 bebewandiisa okutuula ebigezo nga kuliko abasibe 47.
Wabula omwogezi wa UNEB Jennifer Kalule Musumba, alabudde amassomero ssaako n’abaana okwewala okwenyigira mu bikujjuzo, ebiyinza okutambuza Covid-19.