Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akyazizza Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II mu makaage e Nakasero, akawungeezi ka leero.
Kabaka, awerekeddwako Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga, Omulangira David Kintu Wasajja ssaako n’Omutaka Namwama Augustine Mutumba ,Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka.
Pulezidenti Museveni agamba nti wakati we ne Bbeene, boogedde ku nsonga ez’enjawulo ezitwala eggwanga mu maaso ssaako n’obuganda.

Oluvudde e Nakasero, Katikkiro wa Buganda Peter Mayiga ayogeddeko eri bannamawulire ku Bulange e Mmengo era wadde agaanye okwatuukiriza ensonga ezogeddwako, agambye nti balina essuubi nti ebyogeddwako byakuteekebwa mu nkola.
Ensisinkano wetuukidde nga waliwo obutakaanya ku nsonga y’ettaka lya Mayiro.
Gavumenti egamba nti okusengula abantu ku ttaka kweyongedde nga kivudde ku ttaka lya Mayiro, olw’abantu obutaba na bwannanyini ku ttaka, Kabaka, ekintu kyawakanya.
Kigambibwa ensonga y’ettaka, y’emu kwezo ezogeddwako akawungeezi ka leero.
Ebimu ku bifaananyi okuva mu State House e Nakasero





