Entiisa ebuutikidde abatuuze, ssemaka bw’akutte ejjambiya natematema mukyala we okutuusa lw’amusse olw’ensonga etamanyiddwa.

Omukyala Asiimwe Phiona myaka 36 ng’abadde mutuuze ku kyalo Kacerere “B” cell mu Tawuni Kanso y’e Ryakarimira mu disitulikiti y’e Kabale yattiddwa.

Ssemaka Sigirenda Wilber ali mu gy’obukulu 50 yakwattiddwa oluvanyuma lw’okutta mukyala we.

Omusajja ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, yalumbye omukyala bwe yabadde agenda okwebaka era mu kiseera ekyo, abaana bonna baabadde bagenze okwebaka.

Omukyala olwagguddewo oluggi, omusajja yamutemye ejjambiya ku bulago, ku mutwe era yafuuye omusaayi, okutuusa lwe yafudde.

Ssemaka Sigirenda nga musajja w’abakyala basatu (3) oluvanyuma lw’okutta Asiimwe abadde omukyala nnamba bbiri (2) yaddukidde eri omukyala nnamba emu (1) Musinguzi Peace era kigambibwa yabadde amaze okunywa ebintu ebigambibwa okuba obutwa.

Bwe yatuuse awaka, wadde yabadde alaga nti mukoowu nnyo, omukyala Musinguzi yamwekengedde era ye kwe kudduka kyokka n’omu ku baana, yamutemye ejjambiya okumpi n’okutu era yatwaliddwa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi.

Abamu ku batuuze bagamba nti ssemaka aludde nga yemulugunya ng’omukyala bw’alina abasajja abalala ate nga n’ensonga z’omu kisenge, abadde asukkiridde okwebuzabuza.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Elly Maate, omusajja atwaliddwa mu ddwaaliro lya Rubaya okufuna obujanjabi kyokka aguddwako emisango gy’okutta omuntu.

Okutya kubuutikidde abatuuze ku kyalo Butambula East mu Monisipaali y’e Bugiri, webagudde ku mulambo gw’omusajja nga gutandiise okuvunda.

Omulambo gusangiddwa mu kasiko, era okuzuulibwa kivudde ku kivundu, ekibadde kitandise okubuutikira ekyalo.

Abatuuze mu kwekebejja omulambo, gusangiddwako ebiwundu ku kifuba, omutwe ssaako n’emikono ate nga tamanyikiddwa ku kitundu.

Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekyalo Musa Waigumbulizi, bagamba nti ensiko esukkiridde ekyalo ekivuddeko abantu abakyamu okukyeyambisa mu kutigomya abatuuze.

Mungeri y’emu bawanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okwongera amaanyi mu kulawuna ekyalo.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Bugiri okwekebejjebwa era omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Diana Nandawula asabye abantu abanoonya omuntu waabwe okuddukirako mu ddwaaliro e Bugiri, oba olyawo bayinza okuzuula omuntu waabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1261928807598711