Katikkiro wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga ayanjulidde Obuganda ezimu ku nsonga ezatutte Ssabasajja Kabaka, Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II  emitalawamayanja mu ggwanga lya Germany.

Bbeene, yasitudde okwolekera eggwanga lya Germany sabiiti ewedde ku Lwokusatu nga 4, omwezi guno Ogwomunaana, 2021 era yatuuse bulungi.

Kabaka ng’atuuse Germany

Wabula Katikkiro Mayiga mu kwogera eri bannamawulire ku Bulange e Mmengo, enkya ya leero ku Lwokusatu, agambye nti Kabaka okufuna obujanjabi obusingawo ku ndwadde ya ‘allergy’ (alaje) erudde ng’emutawaanya, y’emu ku nsonga eyamututte mu ggwanga lya Germany.

Mayiga agamba nti Ekizibu kya alaje oluusi kiva ku mmere gye tulya, empumbu eva ku bimuli, enfuufu n’ebintu ebirala kyokka agamba nti Magulunnyondo alina abaana ate bantu bakulu, alina baganda be era obulamu bwe butunuuliddwa aba famire ssaako n’abasawo abakugu.

Kabaka mu Gwokuna, 2021

Mukuumaddamula Mayiga agamba nti wadde Kabaka agenze mu ggwanga lya Germany, abadde afunye enkyukakyuka oluvanyuma lw’abasawo abakugu mu Alaje okumuwa obujanjabi obwekikugu era abantu abaabadde ku matikkira ge ag’e 28, agaabaddewo nga July 31, 2021 e Masaka – Lwengo, bayinza okukkiriziganya naye.

Eddoboozi lya Mayiga

Katikkiro era agamba nti Kabaka wakusisinkana bannamikago b’Obwakabaka abavujjirira emirimu gy’Embuga wansi w’ekitongole kye, ki Kabaka Foundation.

Kabaka Foundation yatandikibwawo Kabaka mu 1995 era ensonga zonna ezikolebwa mu ‘Foundation’, zikulemberwamu Kabaka yenyini omuli okulemberwamu okugema abantu be era kirina amataba mu nsi ezenjawulo omuli ne Germany.

Mayiga ku Bulange e Mmengo

Mu Germany, Ssabataka Ssekessa Bemba musota agenda kwekeneenya entambuza y’emirimu mu Foundation.

Mungeri y’emu Katikkiro Mayiga alambuludde lwaki Magulunnyondo yagenze mu ggwanga erya Germany, oluvanyuma lw’okukyalirako omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni sabiiti ewedde mu State House e Nakasero.

Mayiga agamba nti Bbeene, yasobodde okutegezako Pulezidenti Museveni nga mukwano gwe ate ng’omuntu omukulu mu ggwanga nti agenda kutambulamu kyokka olugenda lwa Kabaka lubadde lwategekebwa dda okuva mu Gwokutaano.

Eddoboozi lya Mayiga

Ku nsonga za Fred Kajubi Lumbuye ku bigambibwa nti abadde yegumbulidde okulumba Obuganda n’okusingira ddala Katikkiro Mayiga ku ntambuza y’emirimu, nabyo abyogeddeko.

Lumbuye kigambibwa ali mu kkomera

Bulooga Lumbuye nga munnayuganda akolera mu ggwanga erya Turkey era kigambibwa yakwattiddwa ku misango egisukka 40 omuli okutambuza amawulire ag’obulimba n’okubika abantu nga balamu.

Wabula Mayiga agamba nti ye nga Katikkiro wa Buganda, alina ebintu bingi byalina okukola, ensonga za Lumbuye, talina budde bwazo era naye tabimanyi awulira biwulire ng’abantu abalala n’okubisanga mu mawulire.

Katikkiro ku Lumbuye

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506