Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asuubizza okuzimbira abazadde amayumba, olw’okuzaala abaana abawangudde emiddaali mu mpaka za Olympics, ezabadde mu kibuga Totyo mu ggwanga erya Japan.

Museveni mu kwaniriza abaddusi n’okubakulisaayo ku mukolo ogubadde mu kisaawe e Kololo akawungeezi ka leero, agambye nti abaddusi, baakoze nnyo okuteeka Uganda ku maapu y’ensi yonna, era bagwanidde okusiimibwa.

Ku mukolo, abawanguzi omuli Joshua Cheptegei,  Peruth Chemutai ssaako ne Jacob Kiplimo bonna bakwasiddwa kapyata z’emmotoka ssaako n’okusuubiza abazadde okubazimbira amayumba.

Kapyata z’emmotoka

Museveni mu ngeri y’emu agambye nti Gavumenti yakuteeka mu nkola, buli muddusi awangula omuddaali gwa zzaabu (Gold), wakuweebwa omusaala gwa bukadde 5,000,000 buli mwezi nga bwe yali yasuubiza.

Okuwangula omuddaali gwa silver obukadde busatu (3,000,000) ate omuddaali gwa Bronze akakadde kamu (1,000,000).

Eddoboozi lya Museveni

Museveni mu ngeri y’emu abotodde ekyama nti Gavumenti, terina ssuubi lyonna okuzaako omukutu ogwa Face Book.

Agamba nti mu Uganda wadde Face Book yagibwako mu Janwali, 2021 mu kiseera ky’okulonda, emirimu gitambula bulungi ddala omuli eby’obulimi, eby’obulunzi, emirimu gitambula bulungi  era ye ne Gavumenti tebejjusa.

Eddoboozi lya Museveni

Ku lw’abaddusi, Cheptegei awanjagidde Pulezidenti Museveni okubazimbira eddwaaliro mu disitulikiti y’e Kapchorwa, okuyambako abaddusi nga bali mu kutendekebwa okufuna obujanjabi ssaako n’abatuuze mu bitundu ebyo.

Mungeri y’emu asabye Gavumenti okubagulira bbaasi, kiyambeko abaddusi okutambula nga bagenda okutendekebwa n’okuvuganya mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Uganda, yawangudde emiddaali 4 Gold (2), silver (1) ne Bronze (1) nga mu Africa yamalidde mu kifo kyakubiri (2) oluvanyuma lwa Kenya okuwangula emiddaali 10 era mu Africa, yakutte kisooka.

Ate Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Denis Hamson Obua myaka 41 agamba nti Uganda erina okulwanyisa obusiwuufu bw’empisa mu bannabyamizannyo bonna mu ggwanga.

Minisita Obua agamba nti eky’omusituzi w’obuzito Julius Ssekitoleko okubulira e Japan gye yali agenze okukiikirira Uganda, kyayongedde okuswaza eggwanga.

Mu maaso ga Pulezidenti Museveni e Kololo, Minisita Obua agambye nti Ssekitoleko balina okumukangavula kuba talina mpisa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506