Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bavuddemu eddoboozi ku nsonga za Fred Kajubi Lumbuye, ezongedde okusanikira amawulire n’okubuzabuza bannansi.
Lumbuye, Munnayuganda awangalira mu ggwanga erya Turkey nga Bulooga, kigambibwa yakwatibwa kyokka tamanyikiddwako gy’ali.
Sabiiti ewedde, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru Oryem Okello, yavuddeyo n’agamba nti ali mikono gyabwe era essaawa yonna bagenda kumuzza mu Uganda kyokka n’okutuusa kati, tamanyikiddwako waali, ekyongedde okutabula aba famire, mikwano gye ssaako ne bannakibiina ki NUP.
Poliisi egamba nti Lumbuye ali ku misango egisukka 40 omuli okweyambisa emikutu migatta abantu okutambuza amawulire ag’obulimba omuli n’okubika abantu abalamu nti bafudde, omuli n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/08/index.jpg)
Kati no bannamateeka ba NUP okuva mu Wameli & Co. Advocates nga bakulembeddwamu Godfrey Turyamusiima baddukidde mu kkooti enkulu mu Kampala, okusaba kkooti okulagira ssaabawolereza wa Gavumenti okuleeta Lumbuye.
Bano bagamba nti Lumbuye bamwetaaga mu mbeera yonna gyalimu oba mulamu oba mufu.
Mungeri y’emu bagamba nti okuva sabiiti ewedde banoonyeza Lumbuye omuli n’okwekebejja ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS nga musajja waabwe taliiyo.
Munnamateeka Turyamusiima agamba nti ebiriwo, biraga nti Lumbuye yakwatibwa mu ggwanga erya Turkey abasajja abaali mu ngoye ezabuligyo okuva mu bitongole ebikuuma ddembe era y’emu ku nsonga lwaki balemeddeko n’okutwala Gavumenti mu kkooti.
Ate Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP David Lewis Rubongoya agamba nti balina okulwanyisa ebikolwa byonna, ebyokutyoboola eddembe ly’obuntu.
Rubongoya agamba nti eky’okusiba Lumbuye okuva sabiiti ewedde, y’emu ku nsonga lwaki bavuddeyo okulwanirira eddembe lye nga munnayuganda.
Mu kwogera eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya mu kujjukira bannakibiina abazze battibwa, Rubongoya agamba nti teri kuzikiza okutuusa nga Lumbuye azuuliddwa.
Ate Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alaze okutya olw’abaana abawala abenyongedde okufuna embutto olw’amasomero okuggalwa wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Kyagulanyi agamba ebiriwo kiraga nti Gavumenti tefuddeyo ku byenjigiriza era omuwendo gw’abaana abafunye embutto gweyongedde okusukka ebitundu 20 ku 100, ekyongera okuteeka eggwanga mu katyabaga.
Ebirala ebifa mu nsi – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/376626110693480
Bya Nakaayi Rashidah