Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja eyasse mukyala we olw’okusangibwa nga yakava, okwerigomba n’omusiguze nga n’ennyumba, ekyawunya akaboozi.
Ewilly Tom nga mutuuze we Kawala yakwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga mu kwogerako, eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti omukyala Abeno Christine abadde alina muganzi we omulala.
Enanga agamba nti omusajja Tom yalimbye mukyala we nga bwe yabadde agenda mu kyalo nga wakumalayo ennaku.
Wabula mu kiro, omukyala Abeno yaleese muganzi we mu nnyumba era yabadde bali mu kunyumya akaboozi nga tewali kibalemesa.
Omukyala yabadde yakava mu kaboozi ne muganzi we, ssemaka Tom yakomyewo mu kiro, okwekeneenya omusajja abadde aganza mukyala we.
Omusiguze, yabadde alina ekiwago era yasobodde okusindika oluggi okudduka okwewala okulwanagana ne Tom.
Wabula wadde omusiguze yasobodde okudduka, Tom yayingidde mu nnyumba kwe kusaanga Abeno ng’asobeddwa.
Yakutte akambe era wadde mukyala we Abeno abadde amwagala nnyo, yamufumise ku nsingo, ekifuba, obulago era omulambo gwa Abeno, gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.
Enanga agamba nti omusajja Tom okulimba omukyala nti agenda mu kyalo n’okudda ekiro okumuketta, kiraga nti yabadde alina ekigendererwa eky’okutta omukyala.
Enanga avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo era agamba nti omusajja Tom wakutwalibwa mu kkooti essaawa yonna.