Ebikujjuko bikyagenda mu maaso mu ggwanga erya Zambia wakati mu byokwerinda nga bannansi bajjaguza olwa Hakainde Hichilema okuwangula abadde omukulembeze w’eggwanga lyabwe Edgar Lungu.

Okusinzira ku birangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda, Hichilema eyakulembeddemu oludda oluvuganya afunye obululu 2,810,777 ate Lungu amalidde mu kyakubiri n’obululu 1,814,201, mu kalulu akaakubiddwa sabiiti ewedde ku Lwokuna.

Abalonzi, baabadde mu bukadde 7 era kigambibwa bangi ku bannansi balemeddwa okwetabwa mu kulonda olw’embeera eyabadde mu ggwanga omuli okutisatiisa abalonzi, abakazi abalina cutekisi ku njala okubalemesa okulonda n’ensonga endala.

Edgar Lungu myaka 64 abadde mu ntebe okuva nga 25, Janwali, 2015 era obukulembeze bwe, bangi ku bannansi bagamba nti enguzi ebadde esukkiridde, okutyoboola eddembe ly’obuntu, ebyenfuna nga byongedde okuzingama ssaako n’ebbula ly’emirimu.

Hichilema abadde musajja ayagala obukulembeze era abadde yakavuganya emirundi 5 nga bamuwangula.

Yazaalibwa nga 4, ogwomukaaga, 1962 era aweza egy’obukulu 59.

Yavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga 2006, 2008, 2011, 2015 ne 2016 okutuusa 2021, lwawangudde.

Hichilema musajja musuubuzi, ng’alina omukyala n’abaana.

Wabula ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Esau Chulu agamba nti Hichilema alindiridde kulayira nga teri kuddamu kulonda kuba asobodde okufuna obululu obwetaagisa mu sseemateeka w’eggwanga ebitundu 50 n’akalulu 1 ku 100.

Wabula Lungu wadde awanguddwa, agamba nti okulonda tekwatambulidde ku mateeka nga y’emu ku nsonga lwaki yabadde asabye akakiiko k’ebyokulonda, okuyimiriza okufulumya ebyavudde mu kulonda.

Lungu agamba nti ebyavudde mu kulonda byakwatiddwamu era akyagaanye okukkiriza nti yawanguddwa.

Mu kiseera kino wakati mu kulwanyisa Covid-19 okusasaana, bannansi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, bakyagenda mu maaso n’okuyisa ebivvulu olw’okulonda omukulembeze omuggya.

Poliisi n’amaggye, batevuunya nga munyera mu ggwanga lyonna n’okusingira ddala mu kibuga Lusaka olw’okutangira embeera eyinza okusajjuka.

Apondoose!
Kyaddaki Lungu akkiriza nti yawanguddwa ku bwa Pulezidenti bwa Zambia mu kalulu akakubiddwa sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 12, Ogwomunaana, 2021.
Lungu asobodde okuyozayoza Hakainde olw’okuwangula eky’obukulembeze bw’eggwanga nga Pulezidenti ow’omusanvu (7) mu Zambia.
Ng’asinzira ku TV y’eggwanga, Lungu yebazizza bannansi okweyambisa okweyambisa amaanyi gaabwe, okulonda omukulembeze w’eggwanga.
Okuvaayo okwebaza Hichilema, kiraga nti eby’okuddukira mu kkooti okuwakanya ebivudde mu kulonda, abisazizaamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga –