Omusajja munnansi we Nigeria asimbiddwa mu kkooti mu kibuga Nairobi mu ggwanga erya Kenya ku misango gy’okaka muganzi we Caroline Wanjiku, okumukomba ebitundu by’ekyama, okumukozesa mu kamwa ssaako n’okuteeka vidiyo ku mikutu migatta bantu.

Omukwate Joseph Adekunle Odu ali mu gy’obukulu 30 asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Francis Andayi ku kkooti ya Milimani.

Mu kkooti, aguddwako emisango omuli okutiisatiisa okutta muganzi we, okweyambisa emikutu migatta bantu mu ngeri emenya amateeka n’okusangibwa n’enjaga.

Okusinzira ku Poliisi, Odu yakubidde muganzi we Wanjiku essiimu okumukyalirako mu nnyumba ye mu bitundu bye Ruaka, okulaba nga bagonjola obutakaanya wakati waabwe.

Omuwala bwe yatuuse mu nnyumba, Odu yamutabukidde nga bw’alina abasajja abalala era yabadde amusuubiza okumutta nga yeyambisa akambe.

Oluvanyuma Odu yakutte akambe era kwe kusaba muganzi we okumukomba ebintu eby’ekyama, namukozesa mu kamwa nga bw’akutte essimu akwata vidiyo.

Oluvanyuma, omusajja yakutte vidiyo, nagiteeka ku Instagram ssaako ne ku sitetasi ya WhatsApp.

Omuwala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yabadde abigumidde wabula okuteeka vidiyo ku Instagram ne WhatsApp okumuswaza mu ggwanga lyonna, y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okuddukira ku Poliisi.

Mu kkooti, omusajja y’omu Odu era aguddwako emisango gy’okutisatiisa okutta omukyala omulala mum bitundu bye Kiambu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga 8, Ogwomunaana, 2021, Odu yakozesa ebigambo nti wakutta omukyala adduke okudda mu ggwanga lye erya Nigeria.

Mu kwekebejja amakaage, Odu yasangiddwa n’enjaga era kigambibwa abadde agitambuza mu ggwanga erya Kenya, ekintu ekimenya amateeka.

Ate Poliisi egamba nti Odu, abadde anoonyezebwa era ku misango gy’okuwebuula abakyala n’okuwemula.