Minisita Oryem abyogedde!
Kyaddaki Gavumenti evuddeyo ku nsonga za munnayuganda awangalira mu ggwanga erya Turkey nga Bulooga Fred Lumbuye Kajubi.
Kigambibwa Lumbuye yakwatibwa ku ntandiikwa y’omwezi guno Ogwomunaana, 2021 okuva mu ggwanga erya Turkey.
Lumbuye ali ku misango egy’enjawulo egisukka 40 omuli okweyambisa emikutu migatta abantu omuli Face Book okutambuza amawulire ag’obulimba omuli n’okubika abantu abalamu nti bafudde omuli n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.
Wadde amawulire galaga nti yakwatibwa okuva mu ggwanga erya Turkey, tamanyikiddwako gy’ali era okuva lwe yakwatibwa, bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bakoze buli kimu okuzuula omuntu waabwe.

Aba NUP nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bagamba nti Lumbuye bw’aba alina emisango, balina okumutwala mu kkooti.
Bobi Wine agamba nti Lumbuye okumukuumira ku poliisi nga tanatwalibwa mu kkooti kuvunaanibwa oba okwewozaako, kityoboola eddembe ly’obuntu.
Wadde aba NUP bagamba nti tewali kubusabuusa kwonna, Lumbuye ali mu mikono gya Gavumenti ya Uganda kuba mu ggwanga erya Turkey, bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Anthony Wameli bamunoonyeza ku poliisi zonna ne mu ofiisi z’ebitongole byokwerinda, mu makomera n’amalwaliro gonna nga taliiyo.
Enkya ya leero, Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga munnamateeka Henry Oryem Okello agumizza eggwanga ku nsonga za Lumbuye.
Mu kusooka, Minisita Oryem yategeeza nti Lumbuye ali mu mikono gyabwe era essaawa yonna bamukomyawo mu Uganda okuwerenemba n’emisango egyamuggulwako.
Minisita Oryem bw’abadde ku NTV enkya ya leero, agambye nti Lumbuye ali bulungi era wakutwalibwa mu kkooti mu kadde akatuufu.
Minisita Oryem agamba nti, “Lumbuye akyali mulamu era abantu tebalina kweralikirira era ebitongole ebimulinako obuvunaanyizibwa byakuleeta Lumbuye mu lujjudde mu kadde akatuufu n’okumutwala mu kkooti. Sirowooza nti ensonga ya Lumbuye erina okutwalibwa ng’enkulu mu ggwanga oba Lumbuye okutwalibwa ng’omuntu ow’enjawulo era eddembe lya Lumbuye liweereddwa ekitiibwa era abantu tebalina kutya kwonna ku nsonga za Lumbuye. Abantu balina okweyambisa akaseera kano okunoonya eky’okulya, okukola ennyo okulabirira abaana, okukola ennyo okwongera ku byenfuna mu maka, nga tebalina kweralikirira ku nsonga za Lumbuye. Mu Uganda mulimu ebintu bingi nnyo eby’omugaso okusinga Lumbuye”.
Ebigambo bya Minisita Oryem, bisanguddewo obulimba nti Lumbuye yattibwa.
Vidiyo
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/569743570695026