Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa Romans Ponsiano Odwori, alagidde bunnambiro Gavumenti okunyonyola, omusibe Wampa Muzaifa amanyikiddwa nga Kanaabe gy’ali oba okumutwala mu kkooti.
Kanaabe y’omu ku basibe omunaana (8) abaakwatibwa ku by’okulumba Minisita w’emirimu Gen Katumba Wamala ne batta muwala we Nantongo Brendah ssaako ne Ddereeva we Haruna Kayondo nga 1, Ogwomukaaga, 2021.
Mu kkooti, bagulwako emisango gy’obutujju, Obutemu ssaako n’okwagala okutta abantu.
Ku basibe 8, 7 bali ku limanda mu kkomera e Luzira kyokka Kanaabe, kigambibwa yatwalibwa ku limanda mu kkomera e Kitalya.
Kanaabe baakoma, okumutwala mu kkooti nga 15, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, 2021.
Enkya ya leero, bannamateeka babakwate nga bakulembeddwamu Geoffrey Turyamusiima basabye omulamuzi, okulagira Gavumenti okuleeta Kanaabe mu kkooti, oluvanyuma lw’emirundi 2 nga mu kkooti talabikako, ekyongedde okutiisa bannamateeka ssaako ne Famire ye.
Omulamuzi akkiriza okusaba kwa bannamateeka nga n’omusango agwongezaayo, nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Babrah Kyomugisha, okutegeeza nti bakyanoonyereza.
Abasibe abali ku Limanda e Luzira kuliko Hussein Sserubula, Yusuf Siraji Nyanzi, Muhammad Kagugube amanyikiddwa nga Musiramu, Kamada Walusimbi amanyikiddwa nga Mudinka, Siriman Ayuub Kisambira nga yeeyita Mukwasi Koja.
Abalala kuliko Abdulaziz Ramathan Dunku ne Habib Ramanthan.
Ate Munna NUP Fred Nyanzi Ssentamu, mukulu wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangiridde okulwanyisa ejjoogo, obuyaaye ssaako n’okubba, okweyongedde eri abakulembeze nga begwanyiza okusigala mu ntebe.
Nyanzi yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya ebyava mu kulonda n’okulangirira kwa Muhammed Nsereko ng’omubaka wa Kampala Central.
Enkya ya leero, omulamuzi Margaret Apiny ayongezaayo omusango ogwo, okutuusa sabiiti ejja ku Mmande nga 23, omwezi guno Ogwomunaana, 2021 nga kivudde ku bannamateeka ba Nsereko, nga bakulembeddwamu Benard Mutyaba okutegeeza nti omuntu waabwe, tewali yamutegezaako nti mu kkooti, alina omusango.
Bano bagamba nti ensonga, bazitegeddeko olunnaku olw’eggulo ku Laadiyo ne Ttiivi, kwe kujja mu kkooti, okutegeera ensonga ezivunaanibwa omuntu waabwe.
Wabula bannamateeka ba Nyanzi, nga bakulembeddwamu Justine Ssemuwaya bavudde mu mbeera nga bagamba nti Nsereko bamutwalira empapula eziraga nti alina omusango kyokka yakasukankasuke.
Oluvudde mu kkooti, Nyanzi awayizaamuko naffe newankubadde omulamuzi abadde agaanye enjuyi zombi, okwogerako eri bannamawulire era agambye nti ye ssaawa okuleeta enkola etambulira ku mateeka.