Minisita Omubeezi ow’ensonga ez’ebweru w’eggwanga Henry Oryem Okello yegaanye ebigambo ebiri mu kutambuzibwa nti gye buvuddeko yategeeza nti Munnayuganda Fred Lumbuye yagiddwa mu ggwanga erya Turkey, ne bamuzza mu Uganda okuvunaanibwa.

Okusinzira ku bitongole ebikuuma ddembe, Lumbuye ali ku misango egisukka 40 omuli okweyambisa emikutu migatta abantu, okutambuza amawulire ag’obulimba omuli n’okubika abantu abalamu nti bafudde.

Kigambibwa yakwatibwa, ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwomunaana, 2021 kyokka bukya akwatibwa, tamanyikiddwako gy’ali.

Wabula Minisita Oryem ng’asinzira mu kakiiko ka Palamenti ek’ensonga z’ebweru w’eggwanga, yegaanye ebiri mu kutambuzibwa, nti yategeeza nti Lumbuye yakomezebwawo era essaawa yonna, bakumutwala mu kkooti.

Minisita Oryem agamba nti yategeeza nti Lumbuye bw’aba alina emisango bateekeddwa okumuzza n’okumutwala mu kkooti kyokka bannayuganda ensonga bazikwata bubi.

Minisita Oryem okwewozaako, kidiridde Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga mu Gavumenti yekisikirize era omubaka we Kyadondo East Muwada Nkunyingi okumulumiriza ku nsonga za Lumbuye.

Nkunyingi agamba nti Minisita Okello Oryem, yategeeza nti Lumbuye bamuzza dda mu Uganda kyokka balemeddwa okumutwala mu kkooti.

Mu kakiiko, Nkunyingi alemeddeko, Minisita okutegeeza eggwanga Lumbuye gy’ali mu kiseera kino nga waliwo n’ebigambibwa nti wadde yakwatibwa, akyali mu ggwanga erya Turkey.

Wabula Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga General Haji Abubaker Jeje Odongo myaka 70 ku nsonga za Lumbuye, alemeddwa okutegeeza akakiiko wa gy’ali mu kiseera kino.

Minisita Jeje Odong ategeezeza nti ensonga za Lumbuye, enteeseganya zikyagenda mu maaso wakati wa Uganda, eggwanga erya Turkey ssaako ne Poliisi y’ensi yonna.

Nga tukyali mu Palamenti, amyuka sipiika Anita Among avudde mu mbeera nayimiriza Palamenti okuddamu okutuula, okutuusa sabiiti ejja ku Lwokubiri nga kivudde ku Baminisita abaalondebwa, okutambuza emirimu okwebulankanya.

Akawungeezi ka leero, Palamenti ebadde yakatandiika mu ddakiika 20, ng’abakiise ba Palamenti ab’enjawulo balina ensonga zaabwe eziruma abalonzi kyokka nga tewali Baminisita kuzanukula.

Ku Baminisita 82 abali mu Kabinenti ya Pulezidenti Museveni, mu Palamenti mubaddemu 5 bokka, ekyongedde okutabula sipiika, kwe kutegeeza nti embeera eyo, eyongedde okuzingamya entambuza y’emirimu nga Baminisita beeyisa nga abaalondebwa okubeera mirimu gyabwe.

Palamenti olw’ongezeddwayo, okujjaganya kutandikiddewo mu babaka ab’enjawulo n’okususuuta emirimu gya sipiika.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/193614032754268