Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo kye Bukasa mu Divizoni y’e Makindye mu Kampala, Asikaali mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya D-GAP bw’asse omusajja ssaako ne kabiite we atamanyikiddwa mu kiseera kino ku ssaawa 7 ez’ekiro ekikeeseza olwaleero ku Lwokuna.
Munnansi wa Congo Katembo Siviwe myaka 33 yattiddwa ne muganzi we ssaako n’okulumya omu ku bantu b’awaka.
Omukozi atwaliddwa mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo ng’ali mu mbeera mbi.
Poliisi egamba nti Asikaali Raphael Okwanga yafunye obutakaanya ne bakama be era bonna yabakubye masasi era emirambo gyombi, gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Okwanga atwaliddwa ku Poliisi y’e Kabalagala okuyambako mu kunoonyereza.
Mungeri y’emu agamba nti emmundu eyakozeseddwa n’ebisosonkole by’amasasi bizuuliddwa era okunoonyereza kugenda mu maaso.
Owoyesigyire agamba nti fayiro y’omusango yakusindikibwa eri omuwaabi wa Gavumenti okuwabula Poliisi kukiddako.
Bya Nalule Aminah