Kyaddaki abasawo bafulumizza alipoota ku kyavuddeko abadde addumira Poliisi mu ggwanga Maj Gen Paul Lokech okufa.
Maj Gen Lokech yafiiridde mu makaage e Kira-Namugongonga busasaana olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 21, Ogwomunaana, 2021.
Wabula abasawo nga bakulembeddwamu akulira ebyobulamu mu Poliisi, Dr. Moses Byaruhanga baatutte omulambo mu ddwaaliro okwekebejjebwa.
Alipoota y’abasawo eraga nti Maj Gen Lokech yafudde oluvannyuma lw’omusaayi okwetukuta (Blood Clot).
Eby’okuziika!
Okusinzira ku mwogezi w’amaggye Brigadier Flavia Byekwaso, Maj Gen Lokech wakuziikibwa sabiiti eno ku Lwokubiri nga 24, Ogwomunaana, 2021 oba ku Lwokusatu nga 25, Ogwomunaana, 2021.
Agamba balina okusooka okuziika Lt. General Pecos Kutesa.
Kutesa waakuziikibwa olunnaku olwaleero ku Ssande nga 22, Ogwomunaana, 2021 mu makaage e Lyantonde ng’emikolo gy’okumuziika gyakukulemberwamu okusaba.
Wiiki ejja ku Lwokubiri wajja kubaawo olutuula olw’enjawulo mu Palamenti okujjukira emirimu gya Kutesa gy’akoledde eggwanga lino, okusinzira ku Brigadier Byekwaso.
Kutesa 65, yali omu ku babaka abakiikirira amagye mu Palamenti ey’ekkumi nga yafiiridde mu ddwaliro lya Max Hospital e Buyindi gye yali yatwalibwa okujjanjabibwa.
Lt Gen. Kutesa w’afiiridde nga yaakamala okuwummuzibwa mu magye ku ntandikwa y’omwezi guno ku mukolo ogwali mu maka g’Obwapulezidenti ogwakulirwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era ku mukolo teyaliiko, yali mu ddwaaliro.
Okusaba!
Mu kiro ekikeeseza olwaleero, wabaddewo okusabira omubiri gw’omugenzi mu makaage e Kira-Namugongo.
Okusaba, kukulembeddwamu Rev. Fenekansi Kayiza owa St. Thomas Church of Uganda, Kira ng’ayambibwaako Ssaalongo Katumba ne Ronald Nantatya.
Okusaba, kwetabiddwako abantu abasamusaamu olw’okutangira Covid-19 okusasaana n’okuteeka mu nkola ebiragiro by’omukulembeze Yoweri Kaguta Museveni eby’okutangira abantu okungaana.
Ng’ali mu Poliisi!
Maj Gen. Paul Lokech yalondebwa okudda mu bigere bya Maj Gen Sabiiti Muzeyi myaka 46 ku ky’okumyuka omuddumizi wa Poliisi nga 16, December, 2020.
Wafiiridde abadde, yenyigidde butereevu mu kunoonya abatemu abaakola obulumbaganyi bw’amasasi ku Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala, omwafiira muwala we Brenda Nantongo ne ddereeva we Haruna Kayondo nga 1, Ogwomukaaga, 2021.