Ekiyongobero kyabuutikidde ekitongole kya Poliisi n’eggwanga lyonna oluvanyuma lwa Maj Gen Paul Lokech abadde amyuka omuddumizi wa Poliisi okufa.
Olunnaku olw’eggulo, Poliisi yavuddeyo n’ekakasa okufa kwa Paul Lokech ku mukutu gwayo ogwa Twitter kyokka ne bategeeza nti baakufulumya ekiwandiiko ku kiki ekiviiriddeko okufa kwe. Poliisi egamba nti Maj Gen. Lokech yafiiridde mu makaage, “The IGP with deep sorrow regrets to announce the sudden demise of the Deputy Inspector General of Police, Major General Paul Lokech. He passed on from his home this morning“.
Mungeri y’emu n’omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola myaka 62 naye yakakasizza okufa kwa munnamaggye Maj Gen. Lokech. Ochola yalagidde akulira ebyobulamu mu Poliisi, Dr. Moses Byaruhanga okwekebejja omulambo okuzuula ekivuddeko Maj Gen. Lokech okufa, “With deep sorrow I regret to announce the sudden death of the Deputy Inspector General of Police, Major General Paul Lokech. I have tasked the Director of Medical Services, Dr. Moses Byaruhanga to carry out postmortem to establish the cause of death“.
Ate n’omwogezi w’amaggye Brigadier Flavia Byekwaso naye yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza eggwanga okufa kwa Maj Gen. Lokech era yasuubiza okutegeeza eggwanga amawulire amalala gye buggya, “UPDF fraternity regrets to announce the passing on of the Deputy Inspector General of Police Maj Gen Paul Lokech. More details to follow. May His Soul Rest In Eternal Peace“.
Okufa kwe kuvudde ku ki?
Wadde omuddumizi wa Poliisi Ochola yalagidde Dr. Byaruhanga okwekebejja omulambo okuzuula ekituufu ekyavuddeko okufa kwe, amawulire agali mu kutambuzibwa, galaga nti yafudde kwetukuta kwa musaayi.
Kigambibwa yagwa okuva mu ntebe ng’ali mu offiisi kwe kufuna okwetukuta kw’omusaayi mu kugulu era kwe kusaba okugenda awaka okuwumula sabiiti nga 2.
Amawulire galaga nti Maj Gen. Lokech bwe yabadde agenze okunaaba, yanafuye era embeera yeyongedde okubiggya ng’ali waka okutuusa lwe yafudde.
Maj Gen. Paul Lokech yalondebwa okudda mu bigere bya Maj Gen Sabiiti Muzeyi myaka 46 ku ky’okumyuka omuddumizi wa Poliisi nga 16, December, 2020.
Wafiiridde abadde, yenyigidde butereevu mu kunoonya abatemu abaakola obulumbaganyi bw’amasasi ku Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala, omwafiira muwala we Brenda Nantongo ne ddereeva we Haruna Kayondo nga 1, Ogwomukaaga, 2021.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506