Omubaka we Buhweju mu Palamenti Francis Mwijukye, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande yasimatuse okuttibwa abatuuze oluvanyuma lw’emmotoka ye okutomera n’okutta abaana babiri ku kyalo Mbizzinya–Kyengera okumpi n’akatawuni k’e Buwama ku luguudo lwe Kampala – Masaka.

Akabenje kaabaddewo ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi oluvanyuma lw’emmotoka ye (Mwijukye) ekika kya Land Cruiser Prado namba ‘MP WAITU’, okutta abaana n’okutomera owa bodaboda eyabadde ku Pikipiki namba UDX577E.

Poliisi egamba nti abaana abattiddwa kuliko Florence Nabukenya myaka 13 ne Tadeous Lubyayi, 9 okuva mu famire emu ku kyalo Mbizinya mu Tawuni Kanso y’e Buwama.

Poliisi era egamba nti omubaka Mwijukye yabadde mu mmotoka n’abantu abalala basatu (3) era baafunye ebisago ebyenjawulo.

Omu ku batuuze mu katawuni k’e Buwama James Mulindwa, agamba nti abatuuze baavuddeyo nga banyivu nnyo okwagala okutta abantu abali mu mmotoka n’okugikumako omuliro wabula Poliisi yasobodde okutaasa omubaka Mwijukye n’abantu be era ne batwalibwa.

Mungeri y’emu agamba nti emmotoka y’omubaka yabadde edduka nnyo era kiteeberezebwa aliko konvoyi gye yabadde agoba era yasoose kutomera n’okutta abaana babiri, oluvanyuma kwe kutomera owa bodaboda, eyatwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga Lydia Tumushabe, agamba nti ddereeva w’omubaka Mwijukye, James Barekye myaka 47 yabadde adduka nnyo era kye kyavuddeko akabenje.

Barekye agamba nti ddereeva Barekye yakwattiddwa era mu kiseera kino ali mu kaduukulu ka Poliisi ku misango gy’okutta abantu.

Emmotoka y’omubaka Mwijukye ne bodaboda byatwaliddwa ku Poliisi y’e Buwama, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Mungeri y’emu agambye nti owa bodaboda yatwaliddwa mu ddwaaliro lye Gombe oluvanyuma lw’okumenyeka omugulu.

Emirambo gy’abaana gyatwaliddwa mu ddwaaliro lye Gombe okwekebejjebwa.

Wabula amawulire agaliwo galaga nti n’owa bodaboda eyatwaliddwa mu ddwaaliro naye afudde mu kiro ekikeeseza olwaleero ku Mmande nga 23, Ogwomunaana, 2021, ekiraga nti omuwendo gw’abattiddwa kati bali basatu.

Wadde emmotoka eyakoze akabenje yabadde ya mubaka Mwijukye, tekimanyiddwa oba naye alina emisango kuba kati abantu basatu battiddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/327566649153548

Ekifaananyi kya Daily Monitor