Poliisi mu ggwanga erya South Africa, eyungudde abakungu okunoonyereza ku mutemu, eyagumbulidde okutta pussi mu bitundu bya Cape Town.
Okunoonyereza kulaga nti okuva omwezi oguwedde Ogwomusanvu, Pussi 42 zittiddwa.
Ekimu ku kibiina ekivunaanyizibwa ku nsolo mu ggwanga erya South Africa ekya Animal Welfare Society, ku Pussi ezittiddwa, 2 zikebeddwa nga zagiddwamu emitima n’amawugwe.
Sabiiti ewedde ku Lwokutaano, Poliisi yakwata omusajja myaka 40 ku misango gy’okutta Pussi kyokka oluvanyuma yayimbuddwa nga tewali kiraga nti y’omu ku batemu.
Omu ku batuuze Faiza Jacobs agamba nti omutemu yakatta Pussi ze 3 omuli Potato ne Smokey.
Kati no aba Animal Welfare Society bataddewo ssente 20,000 eze South Africa (Rand), ku muntu yenna ayinza okubatuusa ku mutemu wa Pussi.