Naye lwaki abasirikale bakuba abantu!
Omutuuze Daniel Isabirye ali mu gy’obukulu 28 ali maziga, olw’abasirikale mu kitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi okumutimpula emiggo ssaako n’ensambaggere.
Isabirye nga mutuunzi wa byuma mu ggoombolola y’e Buwenge, agamba nti sabiiti 2 eziyise, abasirikale abaali kabangali ya Poliisi, bamusaanga bwe yali mu Katawuni k’e Magamaga ku luguudo lwe Jinja – Kamuli ne bamukuba olw’okutambula mu ssaawa za Kafyu.
Agamba nti abasirikale baali bayambadde obukookolo ku maaso era wadde yabategeeza nti mulwadde, bamukuba batuuni omubiri gwonna ssaako n’okumusambasamba.
Isabirye wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti oluvanyuma lw’okukubwa, yatwalibwa Poliisi y’e Magamaga, gye bamukuumira okumala ennaku 4 oluvanyuma nateebwa nga balabye nti ali mu mbeera mbi.
Ate abazadde okuli taata James Badagawa, agamba nti abasirikale batwala ebintu bya mutabani we omuli ssente nga kiswaza Poliisi okutwalira amateeka mu ngalo ate Batuuni ze bamukuba ku mutwe, zamukosa nnyo.
Ate maama Margret Badagawa, akulembeddemu okujanjaba mutabani we Isabirye agamba nti ng’omwana omulenzi, baamukuba omugongo era n’essuubi ly’okuddamu okufuna ku ssanyu ly’omukisenge, lyongedde okukendeera.
Maama asabye abakulu mu kitongole ekya Poliisi okunoonyereza ku basirikale abatwalira amateeka mu ngalo ne bakuba mutabani we emiggo ssaako n’okubayamba ku ssente ez’obujanjabi.
Agamba nti betaaga eddagala, eby’okunywa, eby’okulya era byonna byetaaga ssente, ezitaliwo mu kiseera kino.
Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira James Mubi agamba nti kituufu Isabirye yali ku Poliisi yaabwe e Magamaga era agamba nti Poliisi eri mu kunoonyereza ku misango gy’okumutulugunya.
Sabiiti ewedde mu kwogera kw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yavumiridde eky’abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe okutwalira amateeka mu ngalo ne bakuba abantu abateeberezebwa okuzza emisango.
Pulezidenti Museveni agamba nti tewali muntu yenna alina kutwalira mateeka mu ngalo nga singa omuntu yenna akwattibwa, balina kumutwala mu kkooti.
Agamba nti bakooye abantu abakola ebikolobero ng’abantu okusiiga Gavumenti enziro n’okutyoboola eddembe ly’abantu.
Yasuubiza nti nga Pulezidenti wa Uganda, tewali muntu yenna alina kuddamu kutyoboola ddembe lya muntu yenna wadde okwenyigira mu bikolwa eby’okutulugunya omusibe.
Ebirala ebiri mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/327566649153548