Fred Nyanzi Ssentamu, mukulu wa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), akangudde ku ddoboozi ku bannamateeka, abasukkiridde okweyambisa obukodyo obwenjawulo okulemesa omusango gwe, oguyinza okumutwala mu Palamenti.
Nyanzi yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya obuwanguzi bwa Muhammad Nsereko ng’omubaka wa Kampala Central, okuvunaana akakiiko k’ebyokulonda ssaako n’eyali akulira eby’okulonda mu Kampala mu kulonda okuwedde.
Wabula enkya ya leero, omusango guzzeemu okuwulirwa mu kkooti enkulu mu Kampala, mu maaso g’omulamuzi Margeret Apinyi era munnamateeka wa kakiiko k’ebyokulonda Eric Sabiiti, azzeemu okutegeeza omulamuzi nti oludda oluwaabi, lwalemeddwa okutegeeza Nsereko nti mu kkooti, alina emisango, egikwata ku by’okulonda.
Munnamateeka Sabiiti asabye omulamuzi agobe, omusango nga teguyinza kugenda mu maaso nga Nsereko, balemeddwa okumutegezaako.
Nyanzi agamba nti okulonda kwonna wamu n’okubala akalulu kwalimu emivuyo nga gyakolebwa kakiiko ka byakulonda awamu ne baagenti ba Nsereko.
Mu kkooti, Nsereko talabiseeko era akiikiriddwa munnamateeka we Robert Bautu.
Munnamateeka Bautu agamba nti baafunye okuteegezebwa nti mu kkooti Nsereko alina emisango era kwe kujja okutegeera omuntu omutuufu ali mu kkooti, kuba omuntu waabwe talina kyamannyi.
Wabula omulamuzi Apinyi alagidde akakiiko k’ebyokulonda okuteekayo okwewozaako kwabwe mu buwandiike obutasukka Lwakusatu nga 25, omwezi guno Ogwomunaana, 2021 ate bannamateeka ba Nyanzi baddemu okwanukula kw’akakiiko k’ebyokulonda obutasukka nga 22, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2021, oluvanyuma omulamuzi wakuwa olunnaku olw’okuwa ensala ye.
Oluvudde mu kkooti, Nyanzi agamba nti bannamateeka abato, basukkiridde okulemesa enkola ey’amateeka mu ggwanga nga beeyambisa obukodyo obutali mu mateeka.
Mungeri y’emu atabukidde akakiiko k’ebyokulonda okulaga nti bali wamu ne Nsereko ku byakolebwa nga 14, Janwali, 2021, ku lunnaku olw’okulonda, ekintu ekigenda okubaswaza.

Mu kulonda, Nsereko yawangula ng’afunye obululu 16,988 ate Nyanzi yafuna 15,975 nga waliwo enjawulo ya bululu 1,013, Nyanzi ekintu kyawakanya.
Balooya ba Nyanzi bagamba nti okubba obululu kwali mu bifo okuli Bakerville e Kololo, Kiyindi Mosque, Old Kampala SS, Mukwano Center, Kitawuluzi Hall (A-Z) Hajj Katende Home, National Thearter, Kiguli Mango Tree, Superior Complex, Summit View, Bus Park Nakivubo, Kibwa Zooni, Balikuddembe Primary School, Kitanmte Courts, KCC Primary Scholl Muh-Z ne Tlc Leisure Center.
Ebirala kuliko: Blue Room Zooni – Chairmans Place, Basajjabalaba Taxi Park (A-K), Basajjabalaba Taxi Park (L-Nam) , Nakasero (A-L) , Hoima Road Flats, All Saints B, York Village – East Kololo Primary School, Mackenzie –East Kololo Primary School, Kiyindi Mosque, All Saits A, Muti Bay Car Washing Bay, Baptist Church, Kakajo 1 Zone ne Seroma Park Yard.
Ebifo ebirala mu Kampala kwe kuli (N-Z), Seventh Day Adventist Church (A- Kh), Kiira Road Police Playground, Dafoliles Academy, NHCC Flats, Seventh Day Church (Nat-Z), Seventh Day Church (Ki-Naki), Kibwa Zone, Balikuddembe Primary School. Awalala Kasaato Zone (A-L) TLC Leisure Center (A-J), Park Yard (A-M), Central Zone, Community (A-L), TCL Leisure Center (A-J), Management Institute, Rutabaga Road LC Meeting, Rutabaga Road Printer , Muyembe Mawanda, Jambula (A-M), Two Way Primary School (A-M), KCC Primary School (A-Hug), Homisdallen Primary School (N-Z), Homisdallen (N-Z) , Kalina, Bat Valley Primary School, Park Yard (N-Z) ne ku Nalunkuuma road poliing station.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/327566649153548
Bya Nakaayi Rashidah