Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda ayimiriza eky’abakwasa amateeka mu kitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA), okuddamu okuwamba ebintu by’abasuubuzi n’okusingira ddala abatembeyi ku nguudo z’omu Kampala nga tebawandiisiddwa.
Minisita Kabanda agamba nti kikoleddwa, okutaasa emmaali y’abasuubuzi ebadde ebibbibwa, ng’etwaliddwa abakozi ba KCCA.
Minisita okuvaayo, kidiridde abasuubuzi abakooye embeera okuddukira mu offiisi ye okuyambibwa era amangu ddala abakwasa amateeka babiri (2) bagobeddwa lwa kwenyigira mu kulya nguzi n’okutwala emmaali y’abasuubuzi.
Mungeri y’emu bakoze enkyukakyuka nga buli akwasa amateeka mu KCCA, emirimu agikolere mu kitundu gy’asula, nga kikoleddwa abakozi, okufuna ku nsonyi nga bakola emirimu gyabwe.
Minisita Kabanda azzeemu okulambulula entekateeka ya Gavumenti ey’okulwanyisa omugoteko gw’ebidduka mu Kampala.
Agamba bbaasi zigenda kuggya, kikendeeze ku Takisi eziri mu Kampala ssaako n’okuggya bodaboda mu Kampala olwa Bannakampala, abagenda okuzeeyambisa mu byentambula.
Ate entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Lwengo, omu ku batuuze bw’azuuliddwa enkya ya leero, nga yattiddwa.
Richard Mbaziira ali mu gy’obukulu 60, abadde mutuuze ku kyalo Kyaboggo mu ggoombolola y’e Kkingo, mu nju abadde asulamu yekka era abatemu baamusse mu kiro ate omulambo gwe, guzuuliddwa enkya ya leero ku ssaawa nga 4 emanju w’ennyumba.
Mbaziira yakubiddwa ekintu ku mutwe ekikaluba emirundi egiwera era omulambo gwe, gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.
Wabula Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu nnyo era agamba nti okunoonya abatemu kutandikiddewo.
Mu bbanga lya myezi 2, abantu 10 kati battiddwa mu disitulikiti y’e Lwengo, ekyongedde okutiisa abatuuze.
Mbaziira abadde musomesa wa ddiini era okuttibwa kwe, abatuuze kwe basinzidde okusaba Poliisi okwongera amaanyi mu kulawuna obudde obw’ekiro, mu ssaawa za kafyu, okubataasa ku batemu, abeyongedde mu kitundu kyabwe.
Aloysius Kibira, ssentebe wa LC III mu ggoombolola y’e Kkingo agamba nti Mbaziira ye muntu Owokusatu okuttibwa mu ggoombolola y’e Kkingo mu bbanga lya myezi 2.
Abalala abattiddwa kuliko John Kabanda myaka 60 omutuuze we Bigando ne Vincent Kalya 40 omutuuze we Nzizi, abattibwa nga 21, Ogwomusanvu, 2021.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/268796448109670