Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okulumako muganzi we ebbeere olw’obutakaanya wakati mu kusinda omukwano.
Omusajja ali mu gy’obukulu 30 yakwattiddwa ku misango gy’okulumya omukyala 25.
Omukyala, aludde ng’ayenda ku bba nga balina okusika omuguwa wakati waabwe era akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yamutegezezza nga Nnyina bw’amuyise okubaako ensonga zebagenda, okuteesaako.
Omusajja yakkiriza okusigaza omwana myaka 3 kyokka ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, yafunye essimu nti mukyala we, muganzi we amulumyeko enywanto y’ebbeere.
Omukyala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti muganzi we, wakati mu kusinda omukwano, abadde akooye ate ng’omusajja, alemeddeko.
Agamba agezezaako okumulemesa okweyongerayo era avudde mu mbeera, kwe kumuluma ebbeere.
Omukyala atwaliddwa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi, muganzi we akwattiddwa ate bba, asigadde yewuunya obwenzi bwa mukyala we era amulabudde nti oluva mu ddwaaliro, tadda makaage.
Embeera eno, ebadde mu bitundu bye Imo mu ggwanga erya Nigeria era abasajja batabukidde abakyala mu kitundu ekyo, okweddako ku nsonga z’obwenzi.
Wabula omusiguze mu kwewozaako, agamba nti omukyala abadde muganzi we okumala emyezi mukaaga (6) era bakaanyiza bagenda mu loogi kuba naye musajja mufumbo. Omusiguze agamba nti yavudde mu mbeera olw’okutwala omukyala mu loogi ey’ebbeeyi ate ne yefuula nti akooye nga baakatandika.