Waliwo omusajja asimatuse okuttibwa abatuuze bw’abadde agezaako okusobya ku mwana ali mu gy’obukulu 14 e Nansana, Gganda mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omusajja ono nga mutuuze we Nsumbi Kyebando, yakubiddwa abatuuze nga baagala okumutta okutuusa abakulembeze ku kyalo nga bakulembeddwamu Kansala Abdu Batuusa, webayingidde mu nsonga okumutaasa, n’okutangira abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo.
Omwana agamba nti wadde asimatuse okusobezebwako, omusajja abadde amaze okumunywegera ssaako n’okusembeza emikono gye okumpi n’ebitundu bye eby’ekyama nga n’empale, asemberedde okugigyamu, ekyongedde okunyiza abatuuze.
Omwana wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti omusajja abadde akalambidde okumukozesa.
Newankubadde omusajja, atwaliddwa Poliisi, Kansala Batuusa avumiridde ekya batuuze be okutwalira amateeka mu ngalo ku bantu abakwattiddwa, abateeberezebwa okwenyigira mu kuzza emisango.
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti omusajja ali mikono gyabwe kyokka abadde akubiddwa nnyo abatuuze.
Luke agamba nti essaawa yonna bagenda kumugyako Sitetimenti, okuyambako mu kunoonyereza.