Poliisi y’e Bugembe mu kibuga kye Jinja, ekutte abalenzi babiri (2) ku misango gy’okuwasa omwana ali mu gy’obukulu 13 era bonna, baludde nga besobyako.

Omwana omuwala abadde yakamala n’abalenzi omwaka mulamba okuva omwaka oguwedde ogwa 2020 nga besobyako buli kiro, nga baliko akazigo kebapangisa mu Tawuni Kanso y’e Bugembe.

Abalenzi bombi okuli owe 12 ne 14, baludde nga basobya ku mwana omuwala nga n’abatuuze tebafaayo.

Poliisi egamba nti abakwate, baludde nga benyigira mu kubba ssente okuva ku jjajaabwe, okupangisa ennyumba n’okuliisa mwana munaabwe, abadde akola nga mukyala we.

Jjajja Tumwebaze Lindah agamba nti abalenzi era baludde nga benyigira mu kubba ebintu by’omu nju, Wuufa, DVD ssaako n’ebintu ebirala okusobola okusanyusa mwana munaabwe.

Poliisi egamba nti yafunye amawulire nti waliwo omwana omuto, eyali yafumbirwa abalenzi abato, kwe kuvaayo okunoonyereza.

Omwana agamba nti wadde abadde akozesebwa abalenzi bombi, bonna tekuli gwayagala kuba naye akyali mwana muto kyokka asabye Poliisi bonna okubasonyiwa.

Omwana agamba nti mu Kampala, yali mu kibiina kyakutaano (P5) era okufuna eky’okulya, baludde nga benyigira mu kutambuza amenvu.

Agamba nti Kapito, zezimu ku ssente ezabibwa ku jjajja, okusobola okunoonya eky’okulya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira, Jame Mubi, abalenzi abakwattiddwa nga n’omwana agiddwayo okuyambako mu kunoonyereza.

Mubi mu ngeri y’emu avumiridde eky’abatuuze n’abakulembeze obutafaayo ng’abaana abato, benyigira mu kumenya amateeka.

Agamba nti abantu bangi abali mu kunoonyezebwa okugibwako sitetimenti omuli ne laandiloodi eyakkiriza okupangisa abaana abato okudda mu kwerigomba.

Eddoboozi lya Mubi

Ate bangi ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe, bagamba nti mu kitundu kyabwe, bangi ku baana abawala bafunye embutto ku myaka emito mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Abazadde bagamba nti okuggala amasomero ate nga bakeera kunoonya nsimbi, kyongedde okusajjula embeera Basseduvutto okudda ku baana abato ssaako n’abaana okwegadanga ne baana banaabwe.

Abamu ku bazadde, basabye omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyamba okuzza abayizi ku massomero wakati mu kulwanyisa Covid-19 okusinga okulinda ‘wave’ ey’okusatu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1274258753020271