Bannansi ba Afghanistan 51, batuuse mu ggwanga Uganda enkya ya leero, okufuna ku mirembe oluvanyuma lwe nsi yaabwe okutabuka nga kivudde ku Batalibaani, okuddamu okuwamba obuyinza mu ggwanga lyabwe.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga, abazze kuliko abakyala, abasajja ssaako n’abaana, bonna bakebeddwa ku nsonga y’ebyokwerinda ssaako n’okugibwako ‘Sample’, okwekebejjebwa Covid-19.

Mu kiwandiiko, Minisitule egamba nti Uganda yakkiriza okusaba kwa America, okubudamya bannansi ba ba Afghanistan era y’emu ku nsonga lwaki baleeteddwa.

Ebiriwo, biraga nti batwaliddwa ku Resort Beach Hotel, Entebbe.

Wabula Bannayuganda abakyali mu ggwanga erya Afghanistan nga basobeddwa eka ne mu kibira, Minisitule y’ensonga z’ebweru egamba nti tebaleteddwa nga bakyalemeddwa okutuuka ku kisaawe ky’ennyonyi e Kabul olw’ensonga y’ebyokwerinda.

Ate omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza nti Bannansi ba Afghanistan abaleeteddwa, batuuse bulungi ddala.