Enyiike n’ekiyongobero, bibuutikidde abatuuze n’abakungubazi, ku kyalo Kitikifumba mu Monicipaali y’e Kira abetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Maj Gen Paul Lokech, abadde amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga.
Lokech eyafa ku lunnaku Olwomukaaga nga 21, Ogwomunaana, 2021 nga kivudde ku musaayi okwetuga, olunnaku olwaleero, omulambo guziddwa mu makaage, abakulembeze okusiima emirimu gye ssaako n’abatuuze, omukubako eriiso evanyuma.
Emikolo, gyetabiddwako abantu abatonotono olw’okutangira okutambuza Covid-19, wakati mu byokwerinda ebikulembeddwamu Poliisi n’amaggye.

Newankubadde, abakulembeze abenjawulo boogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde omukozi, ayagala eggwanga lye, omuntu w’abantu, omusajja ow’ekisa, Namwandu Pauline Auma Lokech, ebigambo bye, byongedde okunyika emitima gy’abakungubazi ssaako n’okuyungula amaziga.
Namwanda, agambye nti Lokech, abadde musajja akola emirimu gye mu kadde, ayagala eggwanga lye ate omusajja alina omukwano ku famire ssaako na buli muntu.
Wabula olunnaku olwaleero, omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola talabiseeko mu kusabira omwoyo gwa Maj. Gen. Lokech e Kitikifumba.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ochola tasobodde kubaawo kuba tali mu mbeera nnungi nga mugonvugonvu.
Enanga agamba nti mukama we Ochola Puleesa zalinye oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti Maj. Gen.Lokech afudde.
Ochola yasabiddwa abasawo okuwumula kyokka wadde mugonvugonvu, yasobodde okukyalirako famire y’omugenzi, okubakubagiza n’okubagumya, “The IGP is not here but he is represented because his pressure levels were not okay and the medics advised him to take a rest but he had earlier visited and consoled the family”.
Wadde Ochola tasobodde kubaawo, obubaka bwe busomeddwa omulungamya wa Poliisi ku nsonga z’obufuzi Asan Kasingye.
Ochola agambye nti omugenzi abadde musajja mukozi nnyo era okufa kwe, kulese eddibu ddene mu kitongole kya Poliisi.
Agambye nti Maj. Gen. Lokech abadde musajja ayagala omulimu gwe era ebbanga ly’amaze mu kitongole kya Poliisi, akoze nnyo okukyusa ekitongole kya Poliisi, abadde mwesigwa ate omulwanyi, alemera ku nsonga.
Mungeri y’emu agambye nti mu bbanga lya myezi munaana (8), Lokech gy’amaze mu kitongole ekya Poliisi, y’omu kw’abo, abafunye ekitiibwa okuva mu bannansi mu kaseera akatono.