Poiisi esobodde okweyambisa tiyaggaasi n’amasasi mu bbanga okugumbula ababaka ba Palamenti n’abawagizi bannakibiina ki National Unity Platform-NUP olw’okutangira okutambuza obulwadde bwa Covid-19 mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Enkya ya leero, Barbie Itungo Kyagulanyi kabiite wa Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine abadde akulembeddemu ababaka ba Palamenti okuli owa Nakaseke Central Allan Mayanja Ssebunnya, Katikamu South – Hassan Kirumira n’omubaka omukyala owe Luweero  Brenda Nabukenya, okuddukirira abalwadde n’abakyala abali embutto mu ddwaaliro lye Kikamulo Health Center e Nakaseke.

Ebintu kubaddeko emmere ssaako n’ebyo ebyeyambisibwa abakyala mu kuzaala omuli Mama Kits.

Wabula Poliisi ebalemesezza okutuuka ku ddwaaliro era basabiddwa ebintu byonna okubikwasa akakiiko ka disitulikiti akali ku ddiimu ly’okulwanyisa Covid-19 mu bitundu bye Butalangu, ekivuddeko okusika omuguwa.

Wakati mu kusika omuguwa, abantu abagambibwa okuba abawagizi b’ekibiina ki NUP, beeyongedde okungaana wakati mu kusakaanya nga tebalina masiki, ekiwaliriza Poliisi okweyambisa tiyaggaasi n’amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Barbie alabiddwako nga yenna tasobola kulaba bulungi era abadde ayogera ng’afeesa oluvannyuma lw’okumukuba ttiyaggaasi.

Bw’abadde ayogerako naffe, avumiridde effujjo erikoleddwa abasirikale okulumya abatuuze n’abalwadde olwa ttiyaggaasi abakubiddwaamu ssaako n’okulumya abantu kuba waliwo abafunye ebisago omuli ne bannamawulire.

Barbie

Omubaka Kirumira agamba nti kiswaza Gavumenti okulemesa ababaka okutwalira abantu obuwereza.

Ate omubaka Ssebunnya agamba nti mu disitulikiti y’e Nakaseke abaana bangi abato bafunye embutto mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 era betaaga okuyambibwa.

Ssebunnya agamba nti kino kiseera si kyabyabufuzi nga kiswaza Poliisi okubalemesa okutwalira abantu ebintu.

Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah agamba nti olw’okutangira Covid-19 okusasaana, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi esobodde okweyambisa tiyaggaasi n’amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze.

Ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwomunaana, 2021, Barbie Kyagulanyi era yakulemberamu, omubaka Nabukenya, Kirumira ne Denis Sekabira, okutwalira abalwadde ebintu mu ddwaaliro ekkulu e Luweero.

Batwala ebitanda abakyala kwebazaalira mukaaga (6), okuwa abakyala ebyeyambisibwa mu kuzaala, Paadi saako ne sanitayiza, abalwadde n’abasawo okunaaba mu ngalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/375990150706323