Omuyimbi Winnie Nwagi alaze nti okukola dduyiro y’emu ku nsonga lwaki yekuumidde ku mutindo.
Mu Uganda, Nwagi y’omu ku bayimbi abakyala abegumbulidde okukola dduyiro okusobola okuba ffiiti mu mbeera yonna.

Abasawo bagamba nti dduyiro ayamba nnyo mu kulwanyisa endwadde ez’enjawulo omuli n’okutangira omugejjo.

Mu kiseera kino ng’abayimbi tebakola olw’okulwanyisa Covid-19, Nwagi yasalawo okwenyigira mu kukola dduyiro okusobola okwekuumira ku mutindo.

Nwagi ng’ali mu ggiimu nga yekolako saviisi, yekoze obusolosolo mu ngeri y’okusabbalaza abasajja abamwegomba.