Poliisi n’amaggye bayungudde abawanvu n’abampi okunyweza ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Pader ku kisaawe kye Paipir Primary school mu Tawuni Kanso y’e Pader okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula emikolo gy’okuziika abadde amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Maj Gen Paul Lokech.
Abasirikale nga bakutte emmundu ennene, betoolodde ekifo awateekeddwa ssanduko y’omufu, okutangira ebiyinza okudirira.

Ku kisaawe, awali emikolo, abantu bazze bangi ddala wabula eky’okwambala masiki, bangi bakivaako dda.
Omudduumizi w’amaggye Gen. Wilson Mbasu Mbadi, ayogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde omukozi, omwesigwa, abadde ayagala eggwanga lye era okufa kwe, kulese eddibu ddene mu kitongole ky’amaggye.

Mungeri y’emu agambye nti omugenzi Lokech, yakola nnyo okulwanyisa abatujju b’akabinja ka Al-Shabaab mu ggwanga erya Somalia era wafiiridde abadde ekulembeddemu okuyambako okutereeza ekitongole ekya Poliisi mu ggwanga.
N’olunnaku olwaleero, omudduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola talabiseeko.
Kigambibwa Ochola yafuna Puleesa olw’okufa kwa Lokech era okuva olwo, yasabiddwa abasawo okuwumula nga y’emu ku nsonga lwaki, ku mikolo talabiseeko.
Wabula akiikiriddwa Maj Gen Jack Bakasumba, omukwanaganya w’ebitongole byokwerinda mu kitongole ekya Poliisi.

Ochola agamba nti Lokech, wakujjukirwa nnyo mu kitongole kya Poliisi kuba akoze nnyo mu kulongoosa ekifaananyi kya Poliisi.
Agambye nti Maj. Gen. Lokech abadde musajja ayagala omulimu gwe era ebbanga ly’amaze mu kitongole kya Poliisi, akoze nnyo okukyusa ekitongole kya Poliisi, abadde mwesigwa ate omulwanyi, alemera ku nsonga.
Mungeri y’emu agambye nti mu bbanga lya myezi munaana (8), Lokech gy’amaze mu kitongole ekya Poliisi, y’omu kw’abo, abafunye ekitiibwa okuva mu bannansi mu kaseera akatono.
Lwaki ebyokwerinda biri gulugulu?
Ebitongole ebikuuma ddembe olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna byakutte agambibwa okuba omutujju mu Tawuni Kanso y’e Pader ku by’okupanga bbomu.
Omukwate yakwattiddwa bambega b’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya the Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) okuva mu Atimikica Guest House.
Omukwate yasangiddwa n’ebintu ebyenjawulo ebigambibwa okweyambisibwa okukola bbomu omuli Balubu, waya ez’enjawulo, ebintu nga bya pawuda, ebintu ebyefananyirizaako buto, essaawa nga Digito ssaako n’ebintu ebirala.

Mu kiseera kino omukwate akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Pader era okunoonyereza kwatandikiddewo.
Okuva olunnaku olw’eggulo, ebyokwerinda biri gulugulu okutuusa kati era y’emu ku nsonga lwaki ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye bayungudde bakkomando.
Okuva e Somalia!
Eyaliko Pulezidenti w’eggwanga erya Somalia Sharif Sheikh Ahmed y’omu ku bagenyi abetabye mu kuziika Lokech.

Sharif Sheikh Ahmed yali Pulezidenti wa Somalia okuva mu 2009 okutuuka mu 2012.
Ono ye yatandikawo era yakulira ekibiina kya Himilo Qaran political Party.
Maj. Gen Lokech yafa ku Lwomukaaga nga August 21 oluvannyuma lw’omusaayi gwe okwetukuta ng’aziikibwa Padar olwaleero.
Okusiima!
Wadde Lokech aziikibwa essaawa yonna okuva kati, agava mu State House galaga nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asobodde okusiima emirimu gye.
Museveni asobodde okulinyisa omugenzi ennyota mu magye okuva ku Major General okudda ku Lieutenant General.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/375990150706323