Poliisi mu bitundu bye Kericho mu ggwanga erya Kenya, eri mu kunoonya ssemaka Alfred Kigena ali myaka 30 ku misango gy’okuyiira mukyala we amazzi agookya mu bitundu by’ekyama, ebisambi, ssaako n’amaggulu.
Omukyala Sharon Chepkorir myaka 25 wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yamwokeza oluvanyuma lw’okumusanga ne ssimu ye.
Agamba nti, bba yayingidde mu nnyumba kwe kumusanga ng’aliko ennamba y’essimu gye yabadde akopa okuva mu ssimu kwe kutabuka.
Omukyala agamba nti bba, abadde yafuna obwenzi era kigambibwa ennamba y’essimu, yabadde ya mukyala we.
Olwavudde mu mbeera, yamukubye empi oluvanyuma yakutte amazzi agaabadde ku kyoto agaabadde aka ccaayi, kwe kumuyiira mu bitundu by’ekyama, ebisambi, ssaako n’amaggulu.
Omukyala, mu kiseera kino tasobola kutambula, okutuula ali maziga nga bba mu kiseera kino aliira ku nsiko.
Muganda w’omukayala David Yegon agamba nti baludde nga balina obutakaanya era batudde emirundi mingi, ogonjoola obutakaanya okwewala omusajja okutwalira amateeka mu ngalo ku muganda waabwe.
Yegon awanjagidde abakulu mu Gavumenti n’ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya omusajja, nga betaaga obwenkanya ku by’okwagala okutta muganda waabwe.
Kigambibwa, omukyala yakebedde essimu y’omusajja nga mulimu ‘message’ okuva eri omukyala omulala ‘Hello Dia” era yabadde agezaako okubikula ‘WhatsApp okusoma, bba kwe kumusanga.
Okusinzira ku mudduumizi wa Poliisi mu kitundu ekyo Evans Maritim, okunoonyereza kutandikiddewo ate ku by’okunoonya omusajja, Poliisi egumizza abatuuze okusigala nga bakakamu.