Wuuno omusajja myaka 25 addukidde ku Poliisi okuyambibwa ku muganzi we “Sugar Mammy” gw’agamba nti akooye kyokka amulemeddeko.

Omusajja ono Vundlani Mwandzule mu ggwanga erya South Africa, agamba nti omwaka oguwedde ogwa 2020 ku muggalo ogwasooka wakati mu kulwanyisa Covid-19, embeera yali mbi, era wakati mu kunoonya eky’okulya, weyafunira ‘Sugar Mammy’ myaka 42.

Agamba nti okuva omwaka oguwedde, embeera ebadde emutambulira bulungi ddala ng’omukyala ‘Sugar Mammy ‘ amuwa eby’okwambala, eby’okulya, ssente enkalu, okumutwala mu bbaala ssaako n’ebifo eby’omulembe, mu ggwanga erya South Africa.

Wabula ku Poliisi, omusajja wakati mu kulukusa amaziga agambye nti omukyala abadde buli kiro, balina okwerigomba okutuusa ku makya.

Vundlani Mwandzule

Omusajja agamba nti sabiiti ewedde, oluvanyuma lw’okunywa, yagaanye okwegata n’omukyala nga yabadde mukoowu, ekyatabudde ‘Sugar Mammy’.

‘Sugar Mammy’ yavudde mu mbeera namusuubiza okumusalawo ebintu by’ekyama n’ejjirita.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Omusajja agamba nti omukyala yamukooya kuba akooye okwegata buli kiro wabula ‘Sugar Mammy’  yamusuubiza nti wadde addukidde ku Poliisi, alina okumusalako ebitundu by’ekyama kuba amutaddemu ssente mpitirivu nnyo.

Wabula Poliisi mu bitundu bye Gauteng, egumizza omusajja ku nsonga y’ebyokwerinda era okunoonya omukyala annyonyole ku misango gy’okwagala okutta abadde muganzi we oba okumusalako ebitundu by’ekyama.

Ate mu ggwanga erya Kenya, Poliisi mu bitundu bye Kericho , eri mu kunoonya ssemaka Alfred Kigena ali myaka 30 ku misango gy’okuyiira mukyala we amazzi agookya mu bitundu by’ekyama, ebisambi, ssaako n’amaggulu.

Omukyala Sharon Chepkorir myaka 25 wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yamwokeza oluvanyuma lw’okumusanga ne ssimu ye.

Agamba nti, bba yayingidde mu nnyumba kwe kumusanga ng’aliko ennamba y’essimu gye yabadde akopa okuva mu ssimu kwe kutabuka.

Omukyala agamba nti bba, abadde yafuna obwenzi era kigambibwa ennamba y’essimu, yabadde ya mukyala we.

Olwavudde mu mbeera, yamukubye empi oluvanyuma yakutte amazzi agaabadde ku kyoto agaabadde aka ccaayi, kwe kumuyiira mu bitundu by’ekyama, ebisambi, ssaako n’amaggulu.

Omukyala, mu kiseera kino tasobola kutambula, okutuula ali maziga nga bba mu kiseera kino aliira ku nsiko.

Muganda w’omukayala David Yegon agamba nti baludde nga balina obutakaanya era batudde emirundi mingi, ogonjoola obutakaanya okwewala omusajja okutwalira amateeka mu ngalo ku muganda waabwe.

Yegon awanjagidde abakulu mu Gavumenti n’ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya omusajja, nga betaaga obwenkanya ku by’okwagala okutta muganda waabwe.

Kigambibwa, omukyala yakebedde essimu y’omusajja nga mulimu ‘message’ okuva eri omukyala omulala ‘Hello Dia” era yabadde agezaako okubikula ‘WhatsApp okusoma, bba kwe kumusanga.

Okusinzira ku mudduumizi wa Poliisi mu kitundu ekyo Evans Maritim, okunoonyereza kutandikiddewo ate ku by’okunoonya omusajja, Poliisi egumizza abatuuze okusigala nga bakakamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/371529947999996