Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde ku bantu bagamba nti ’embizzi’, abegumbulidde okutta abantu mu bendobendo lye Masaka.
Museveni agamba nti, tewali muntu yenna, ayinza kuwangula NRM mu byabufuzi wadde okutabangula ebyokwerinda mu ggwanga, nga kiswaza, abatemu okudda ku bakadde okutta.
Muzeeyi Museveni abadde omukambwe, agambye nti abatemu abenyigidde mu kutta abantu e Masaka, tewali kubatira ku liiso era bonna abenyigidde mu kikolwa ekyo, bubakeeredde omuli n’abo, abayinza okubateekamu ensimbi.
Bw’abadde ku mukolo gw’okufulumya abasirikale b’ekitongole ky’amakkomera abakuziddwa ssaako n’abatendekeddwa ku kisaawe e Kololo, Museveni akangudde ku ddoboozi, agambye nti bonna abenyigira mu kikolwa kino eky’okutta abantu 26 okuva omwezi oguwedde Ogwomusanvu, bagenda kwattibwa ate waliwo n’abo abakwatiddwa.
Agamba nti mu Uganda, tewali muntu yenna ayinza kuzza musango, ne balemwa okumutegeera.
Guno gwe mulundi gwa Pulezidenti Museveni okwogera ku ttemu erigenda mu maaso e Masaka era asuubiza okwogerako eri eggwanga ku nsonga y’emu sabiiti ejja.
Olunnaku olw’eggulo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Commissioner of Police Fred Enanga yagambye nti ebitongole ebikuuma ddembe birina abantu 15 ku by’okutta abantu e Masaka.
Yagambye nti balina abantu mukaaga ku by’okutta abantu mu kibuga kye Masaka Kawalya Yazid, Sserwadda Mike, Muwonge Jude, Kibedi Yowana, Nakakawa Sylvia ne Jjemba Francis.
Abamu ku battiddwa mu kibuga kye Masaka kuliko Mukasa Idrisa omutuuze we Kikungwe, Mugerwa Francis amanyikiddwa nga Kizza abadde omutuuze we Setala, Kakooza Sulaiman okuva e Senya, Nampijja Muhangaza 78 eyabadde omutuuze we Kasali, Yeye Peter ku kyalo Bisanje, Mulindwa Mad 44, eyabadde omutuuze we Kiteredde ne Nakato Maria ow’e Kalagala.
Ate mu bitundu bye Lwengo, abaakwate kuliko Kibirango John Bosco amanyikiddwa nga Boy, Sewankabo Muhammad, Namata Justine, Sebunya Issa, Ngabirano Sebastiano, Kabayo Henry, Mutabazi Baptist, Kaganda Moses ne Kayebula Joseph.
Abamu ku battiddwa e Lwengo mwe muli Kabanda John ne Kalya Vincent nga 21, Ogwomusanvu, 2021, Nkaka Joseph 51 nga 31, Ogwomusanvu, 2021, Bwanika Joseph ku kyalo Kiseka nga 4, Ogwomunaana, 2021, Ddumba Joseph Lutakome nga 12, Ogwomunaana, 2021 n’abalala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/209091834536864