Kyaddaki amaggye gatubuulidde lwaki Dr Lawrence Muganga, amyuka Chansala ku Victoria University yakwattiddwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna nga 2, September, 2021.
Dr. Muganga yakwattiddwa abasajja abamu nga bali mu ngoye ezabuliggyo ku offiisi za Victoria University mu Kampala, ekyalese abantu nga bali mu kutya nti awambiddwa olw’engeri gye yatwaliddwamu.
Wabula okusinzira ku mwogezi w’amaggye Brig. Flavia Byekwaso, Dr. Muganga yakwattiddwa ebitongole byokwerinda ku misango egyenjawulo.
Brig Byekwaso agamba nti Dr. Muganga ali ku misango omuli okwenyigira mu kuketa Gavumenti, talina ppaasipoota ya Uganda wadde ekiwandiiko kyonna ekimukkiriza okutambuza emirimu mu ggwanga, ekiraga nti mu Uganda abaddemu mu ngeri emenya amateeka.
Dr. Muganga abadde akulembeddemu Kampeyini y’okukyusa Bannayuganda abakyalwanda okuyitibwa “Abavandimwe” okuva ku “Abanyarwanda” ku bigambibwa nti bakooye okubasosola.
Bagamba nti okuyitibwa Abanyarwanda, balemeseddwa okufuna ppaasipoota ya Uganda, okufuna layini z’essimu mu mannya gaabwe, abamu balemeseddwa okufuna emirimu, ekintu kye bakooye.
Ate Poliisi y’e Jinja ekutte abantu 15 ku misango 3 omuli okubba, okusangibwa n’ebissi ssaako n’okwenyigira mu kutambuza enjaga.
Okusinzira ku Poliisi, abakwate baludde nga beyambisa ebyambe okubba abatuuze mu ssaawa za Kafyu, okutunda, okunywa n’okutambuza enjaga ssaako n’okwenyigira mu kubba Pikipiki.

Mu kikwekweeto ekikoleddwa ku kyalo Wakitaka e Mafubira, Mailo Mbiri mu kibuga kye Jinja, Poliisi egamba nti abakwattiddwa, babadde beyongedde okutigomya abatuuze.
Mu bakwate kuliko n’abaana abato babiri (2) abakolagana n’ababbi, okutigomya abantu era basangiddwa n’ebyambe, emiggo, eby’obulabe ku bulamu bw’abantu.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira – Jinja, agamba nti ebikwekweeto ku by’okunoonya abantu bonna abenyigidde mu kutigomya abatuuze bikyagenda mu maaso.
Mungeri y’emu agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu ku nsonga y’ebyokwerinda.
Ate ebitongole by’okwerinda mu disitulikiti y’e Mityana, bizudde emmundu ekika kya Pisito enjigirire, egambibwa okweyambisibwa okutigomya abatuuze.
Pisito enjigirire yakolebwa nga tewali njawulo na Pisito ntuufu, ekirese abasirikale nga bawuninkiridde.
Okusinzira ku RDC we Mityana Herman Ssentongo, kigambibwa abazigu baludde nga bagyeyambisa okusuula emisanvu mu kkubo okubba abatuuze nga beyambisa Pisito enjigirire okutisatiisa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/914316119165049