Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr. John Chrysostom Muyingo alabudde abazadde okusigala ku mulamwa, obutakkiriza baana kutayaaya mu kiseera kino, eky’okulwanyisa Covid-19.

Dr. Muyingo naye asambaze ebyogerwa nti abayizi, baakudda ku massomero, mu sabiiti nga 2 okuva kati, omwezi guno Ogwomwenda, 2021 nga baakutandika n’abayizi abali mu kibiina ekisooka (P1) P2, P3 abaludde nga bali awaka ssaako n’abali mu siniya esooka S1 ne S2.

Agamba nti, ebiri mu kutambuzibwa byabulimba nga balina okuteekawo embeera, okutangira abaana okulwala nga bazeeyo ku massomero, abaana okulwaza abazadde, okutangira abasomesa okulwala nga y’emu ku nsonga lwaki okubagema, ly’ekubbo erisigaddewo.

Dr Muyingo e Ntinda

Minisita Muyingo agamba nti kabineenti yakutuula okusalawo ku ntekateeka y’abaana okudda ku massomero.

Eddoboozi lya Muyingo

Minisita Muyingo bw’abadde ayogerako n’omusasi waffe Nakaayi Rashidah oluvanyuma lw’okufulumya ebigezo by’abayizi abaasoma eby’emikono, awanjagidde abazadde okwenyigira mu kusomesa abaana baabwe mu kiseera kino nga bakyaali awaka.

Agamba okusomesa abaana, kigenda kuyambako okusigala nga bajjukira ebisomesebwa.

Ku mikolo egibadde e Ntinda mu Kampala, ku mulundi guno abayizi baakola bulungi ate beyongedde obungi era Minisita Muyingo kwasinzidde, okubirizza abazadde okusindika abaana, okusoma emisomo gy’emikono.

Minisita Muyingo agamba nti emisomo gy’emikono, gigenda kuyamba nnyo mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu okusinga abaana okulowooleza mu mirimu gya offiisi.

Ebigezo bino, byakolebwa omwezi Ogwokusatu, 2021 nga ku bayizi 16,144 abaali bewandiisa okutuula ebigezo, 15,019 bebasobola okutuula ebigezo.

Abayizi 1,125 tebatuula nga kivudde ku nsonga ez’enjawulo omuli Covid-19 ssaako n’ensimbi za School Fees okubabula.

Akulira ekitongole kya UBTEB ekivunaanyizibwa ku misomo gy’emikono, Onesmus Oyesigye agamba nti abayizi, mu kiseera kino basobola bulungi nnyo okwetandikirawo emirimu gyabwe.

Ate bo abazadde bawanjagidde Minisita Muyingo okuvaayo okutangaza eggwanga ku ntekateeka y’okuzza abayizi ku massomero.

Abazadde bagamba nti okubakuumira mu nzikiza, sikirungi mu kiseera kino nga betaaga okutegeezebwa, okwetekateeka okunoonya School Fees z’okuzza abayizi ku massomero.

Mu kiseera kino abasomesa bali mu gemesebwa Covid-19 era Gavumenti egamba nti etunuulidde okugema abasomesa 550,000 mu ggwanga lyonna.

Gavumenti egamba nti singa abasomesa 357,500 bagemebwa nga bakola ebitundu 65 ku 100, abayizi basobola okudda ku massomero.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/914316119165049