Bannamaggye abaakutte obuyinza mu ggwanga erya Guinea bayise olukiiko, okusisinkana Baminisita ba Alpha Conde bonna ssaako n’abakulu mu Gavumenti olwaleero.
Olunnaku olw’eggulo, bannamaggye abaakutte obuyinza okuva mu kitongole kya special forces, balangiridde mu butongole nti bawambye abadde omukulembeze w’eggwanga lyabwe Alpha Conde era Gavumenti ye egiddwako.
Mu lukiiko lwa leero, bannamaggye bategezezza nti Minisita yenna singa talabikako ssaako n’abakulu mu Gavumenti, kiba kikolwa kyakulaga nti bafuuse batujju.
Nga basinzira ku Ttiivi y’eggwanga, bagambye nti Bagavana mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo bagiddwako era baloonze baduumira amaggye okulembera ebitundu ebyo.
Alpha Conde wadde yagiddwako, bagambye nti ali mu mbeera nnungi newankubadde kati musibe.
Wabula ekibiina ky’amawanga amagate ekya United Nations n’ekibiina eky’amawanga agali mu mukago gwa Afrika (African Union), bavumiridde eky’amaggye okuwamba obuyinza.
Wabula eyakulembeddemu amaggye okuwamba obuyinza Colonel Mamady Doumbouya agamba nti obuli bw’enguzi obusukkiridde n’okulemwa okutambuza eggwanga, y’emu ku nsonga lwaki namukadde Conde agiddwa mu buyinza.
Conde myaka 83 abadde omukulembeze w’eggwanga eryo, okuva mu December, 2010 okutuusa olunnaku olw’eggulo lwe yagiddwa mu ntebe.
Ku nsonga eyo, omuwandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagate Antonio Guterres avumiridde eky’okuwamba obuyinza era asabye bannamaggye okuzaayo obuyinza eri Conde n’okumukkiriza okuddamu okutambuza emirimu gye.
Wabula abamu ku bannansi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo balabiddwako nga bali mu kuyisa ebivvulu nga bawagira amaggye okuwamba obuyinza.
Nga bali ku nguudo, bagamba nti bawonye Gavumenti Conde, ebadde esukkiridde okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Wabula amaggye galangiridde nti wadde obuyinza bukyuse, kafyu asigaddewo era tewali muntu yenna akkirizibwa kutambula mu ssaawa za kaftu.
Mungeri y’emu amaggye gagamba nti ssemateeka w’eggwanga lina okukyusibwa, okuggala ensalo eziyingira mu ggwanga okumala omwezi mulamba.
Ate wano mu Uganda, Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Ssaabasumba w’eklesia y’Abasodokisi mu ggwanga, Metropolitan Yonah Lwanga eyafiiridde mu Buyonani. Okusinzira Katikkiro Charles Peter Mayiga omugenzi ng’omuntu abadde ayagala ennyo eggwanga lye Buganda wamu n’okulwanirira eddembe ly’abantu abalala naddala abanyigirizibwa.
Mungeri y’emu agambye nti Omugenzi Yonah Lwanga abadde ayogera ku nsonga ezinyigiriza abantu mu ggwanga, ekibadde kimufuula omuntu ow’enjawulo.
Mayiga asinzidde ku Bulange eMmengo enkya ya leero.