Abakiise ba Palamenti abatuula kakiiko k’ebyokwerinda ssaako n’ensonga z’omunda mu ggwanga basabye Gavumenti okuggyawo Kafyu e Masaka, kiyambeko abatuuze mu kitundu ekyo, okwerwanako mu kulwanyisa abebijjambiya.
Akakiiko kali Masaka, okuyambako mu kunoonyereza, okwebuuza n’okusala amagezi ku ngeri y’okulwanyisa ekitta abantu ekiri e Masaka, ekivuddeko abantu abasukka 20 okuttibwa, abasukka 10 okubatematema ne basigaza ebisago ng’abatemu beyambisa ebiso.
Mu lukiiko olwetabiddwamu Minisita w’ebyokwerinda Major General Jim Muhwezi, abakiise ba Palamenti, basabye kafyu okugibwawo oba essaawa okuzongezaayo okuva ku ssaawa 1 ey’ekiro, kiyambeko mu kunyweza ebyokwerinda.
Okusinzira ku Naboth Namanya, akiikirira abantu b’e Rubabo mu disitulikiti y’e Rukungiri, olwa Kafyu, abatuuze balemeddwa okuvaayo mayumba okutaasa banaabwe, ekivuddeko abantu okuttibwa.
Namanya agamba nti singa Kafyu agibwawo, kigenda kuyamba nnyo abatuuze okweyambisa emiggo, amajjambiya, obusaale, embazzi okwekuuma, okusinga okulinda ebitongole by’okwerinda.
Ate ssentebe w’akakiiko Rosemary Nyakikongoro, agamba nti okunoonyereza kulaga nti abatemu, basukkiridde okweyambisa essaawa za kafyu okutambula, okulumba abantu maka gaabwe.
Wabula Minisita Major General Muhwezi asuubiza okutwala ensonga eri abakulu, okwongera okuzitesaako.
Agamba nti Kafyu aliko ebirungi byakoze newankubadde kati, waliwo abatandise okumweyambisa okutigomya abantu.
Bamukwata mmundu balumbye ekyalo era balese abatuuze nga bali mu kutya ssaako n’okulukusa amaziga.
Ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, abazigu nga bakutte emmundu balumbye akatawuni k’e Mwitanzige mu ggoombolola y’e Mwitanzige mu disitulikiti y’e Kakumiro nga benyaga ebintu ebyenjawulo.
Omu ku batuuze Denis Bagonza, omukozi ku Mobile Money ateekeddwa ku muddumu gw’emmundu ne batwala buli kimu kyabadde alina.
Bagonza agamba nti abazigu befudde Bakasitoma, abazze nga betaaga ensimbi era zonna bazitutte ssaako n’ebintu bye.
Oluvanyuma balumbye omutuuze Yasin Baryankoraki, atunda eby’amasanyalaze era batutte amassimu 30 aga Smart Phone, ssente zonna nga naye yateekeddwa ku muddumu gw’emmundu.
Oluvanyuma lw’okubba abatuuze, abazigu bageenze bawandagaza amasasi mu bbanga okusobola okuwudiisa abasirikale ssaako n’okutiisa abatuuze.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine, Julius Hakiza abazigu batutte ssente ezitamanyiddwa muwendo era okunoonyereza kutandikiddewo.
Mungeri y’emu alabudde abatuuze okwewala okutambuza emirimu gyabwe mu ssaawa za kafyu kuba kisikiriza ababbi, okubalumba.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580