Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West ssaako ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North, basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa sabiiti ejja ku Lwokusatu, nga 15, omwezi guno Ogwomwenda.

Olunnaku olw’eggulo, Ssegirinya ne Ssewanyana bakunyiziddwa ku kitebe kya Poliisi e Masaka essaawa eziri mukaaga (6) ku kitta bantu ekigenda mu maaso e Masaka era baguddwako emisango gy’obutemu ssaako n’okwagala okutta abantu.

Okusinzira ku munnamateeka waabwe era omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango gy’okutta abantu basatu (3) n’ogezaako okutta abantu mu kibuga kye Masaka nga 23, omwezi oguwedde Ogwomunaana.

Ssegirinya ne Ssewanyana mu kkooti

Wabula akawungeezi ka leero, Ssegirinya ne Ssewanyana basimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Masaka, Charles Yeteise, era baguddwako emisango 4, emisango 3 gya butemu ate omusango gumu, baali bagezaako okutta omuntu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, Ssegirinya, Ssewanyana n’abalala, batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.

Munnamateeka Malende ne Lukwago mu kkooti

Nga 23, omwezi oguwedde Ogwomunaana, 2021 ku kyalo Setaala, Kimanya Kabonera e Masaka, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka.

Omulamuzi bonna abasindise ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 15, omwezi guno Ogwomwenda, 2021.

Mu kkooti, nga bali mu kaguli, begatiddwako abantu 10 abali ku misango gye gimu egyabaggulwako nga 1, omwezi guno Ogwomwenda nga bali ku limanda mu kkomera e Masaka.

Bano kuliko  Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Nga bali mu kkooti

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ssegirinya ne Ssewanyana wadde mu kkooti, bakiikiriddwa bannamateeka baabwe Ssalongo Erias Lukwago n’omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende, baguddwako emisango gyannagomola.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580