Enanga abyogedde!

Poliisi ekutte Kizza Asuman ku misango gy’okusobya ku muwala ali mu gy’obukulu 18 mu disitulikiti y’e Mubende.

Asuman yamyuka akulira ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Mubende (District Internal Security Officer (DISO), yakwattiddwa ku by’okusobya ku muwala mu offiisi ye.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omuwala yavudde mu bitundu bye Kangulumira era yabadde agenze mu offiisi ya Asuman okukima empapula z’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa Bannansi ekya National Identification and Registration Authority (NIRA) ezimukkiriza okufuna Densite y’eggwanga.

Fred Enanga

Enanga agamba nti Asuman yalemeddwa okuyamba omuwala wabula yasobodde okweyambisa omukisa ogwo, okumukozesa, ekintu ekimenya amateeka.

Agamba nti akwattiddwa okuyambako ebitongole ebikuuma ddembe mu kunoonyereza era essaawa yonna bagenda kumutwala mu kkooti.

Asuman aguddwako emisango gy’okusobya ku muwala era okusinzira ku Enanga, yakwattiddwa sabiiti ewedde.

Eddoboozi lya Enanga

Ate ku kitta bantu mu bitundu bye Masaka, abatemu abebijjambiya boongedde okwanika bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Allan Ssewanyana omubaka we Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North, nti okubasindika okutematema abantu e Masaka, olukiiko lw’atuuzibwa e Ndeeba.

Mu sitetimenti zaabwe, bagamba nti baali basuubiziddwa ssente ssaako n’ebyobugagga era okubasindika e Masaka, baali ku biragiro okutta abakadde mu kitundu ekyo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abebijjambiya balumiriza Ssegirinya ne Ssewanyana, okubawa ebiragiro ku by’okutematema abantu, era nga buli kye bakola, bali wansi wa biragiro byabwe.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru agambye nti okunoonya abebijjambiya kukyagenda maaso nga mu kiseera kino, mu bakwate abasukka mu 70, boongedde okusunsulamu abantu 11 ku by’okutta abantu e Masaka 26 omwezi Ogwomunsanvu n’Ogwomunaana, 2021.

Abantu 12 baasimbiddwa mu kkooti sabiiti ewedde ate 11, okutekateeka fayiro zaabwe kuwedde era essaawa yonna, baakutwalibwa mu kkooti, okuweza omuwendo gw’abantu 23.
Olunnaku olw’eggulo, Ssegirinya ne Ssewanyana nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago beyanjudde ku kitebe kya Poliisi e Masaka olw’ekitta bantu e Masaka.

Baguddwako emisango egy’enjawulo omuli okutta abantu n’okwagala okutta abantu wadde Poliisi yabakkirizza okudda awaka, balina okuddayo ku Poliisi okwongera okuwa amawulire ku bigenda mu maaso e Masaka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580