Famire z’abantu abattiddwa e Masaka, banokoddeyo ensonga 5 ezigambibwa nti zavuddeko abantu baabwe abasukka 20 okuttibwa ssaako n’okutematema abasukka 10, wadde basimatuse okufa mu bbanga ery’emyezi 2.

Aba famire nga bakulembeddwamu Nkwanzi Mary Gorreth, enkya ya leero, basisinkanye ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu ‘State House’, okunyonyola ku bigenda maaso e Masaka.

Nkwanzi agambye nti Kafyu, y’emu ku nsonga lwaki bangi battiddwa olw’abatuuze okutya, okutaasa banaabwe ssaako n’abatemu okweyagala ,nga tewali abagambako.

Mungeri y’emu ayogedde ku nsonga y’amassomero, nti okuggalwa wakati mu kulwanyisa Covid-19, bangi bayizi benyigidde mu kumenya amateeka, okunywa enjaga ssaako n’okutamiira.

Nkwanzi mu ngeri y’emu aloopedde omukulembeze w’eggwanga nti enzikiza olw’okuba nti kyalo, kyongedde okuwa omukisa abatemu, okwegazaanya.

Asabye muzeeyi Museveni okulwanyisa ebbula ly’emirimu nti obutaba namirimu ne bakeera okutayaaya, bangi benyigidde mu kuzza ebikolobero ate okuggala amasinzizo ate tewali ayinza kulambika bantu n’okubudabuda, kyongedde okusajjula embeera.

Bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga okunoonyereza lwaki battibwa ate nga batta bakadde.

Wabula Museveni abagumizza ku nsonga y’ebyokwerinda era agambye nti abebijjambiya bonna abenyigidde mu kutta abantu, ‘mbizzi’ era zonna zigenda kuyigibwa.

Museveni agamba nti waliwo abaakwatiddwa, waliwo abaliira ku nsiko kyokka bonna bagenda kunoonyezebwa, nga mu kutta abantu, waliwo ebyasigalira mu ngeri y’obujjulizi, ebigenda okubayambako, nga tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso.

Ku nsonga y’okulemesa abantu okutambula olwa Kafyu, Museveni agambye nti, tewali muntu yenna gwe bayinza kulemesa kuvaayo kutaasa munne ku nsonga ny’okutaasa obulamu.

Ate ku nsonga y’abayizi okudda ku massomero ssaako n’abantu okudda masinzizo okusinza Omutonzi, Museveni agambye nti Uganda yakafiira abantu abasukka 3,000 wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Agamba okuzza abayizi ku massomero ssaako n’abantu okubakkiriza okuddayo okusaba nga tebagemeseddwa, kiyinza okutambuza obulwadde ssaako n’abafa okweyongera mu ggwanga lyonna.

Museveni akaatirizza nti Gavumenti yakusindika obukadde 10 ku buli famire eyakoseddwa.

Mu kiseera kino, ebitongole ebikuuma ddembe byongedde okunyweza ebyokwerinda, okutangira omuntu yenna okuddamu okuttibwa, oluvanyuma lw’okutta abasukka 20 Omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana.

Ssegirinya ne Ssewanyana nga bali mu kkooti

Okutematema abantu e Masaka n’okuttibwa, y’emu ku nsonga lwaki bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West ssaako ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North, baasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa sabiiti ejja ku Lwokusatu, nga 15, omwezi guno Ogwomwenda, 2021 ku misango 4, ng’esatu (3) gya butemu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580