Minisita ayogedde, abayizi bali mu maziga!

Gavumenti mu ggwanga erya Congo eriko abayizi mukaaga (6) abali mu Sekendule  (secondary) abaganiddwa okudda ku massomero, oluvanyuma lwa katambi okufulumizibwa ku mikutu migatta bantu nga bali kwerigomba.

Mu katambi akatambudde ennyo mu Face Book ne WhatsApp, abayizi baabadde bavudde ku ssomero nga bali mu yunifoomu mu kibuga Kinshasa.

Mu vidiyo, abalenzi bataano (5) babadde bakozesa omuwala omu era nga bali mu ssanyu nga n’omuwala, akikola ayagala era yabadde anyumirwa ebigenda mu maaso.

Yunifoomu, yesiinze okubakwasa, okutegeera essomero ssaako n’okutegeera amannya gaabwe.

Kati no Minisita w’ebyenjigiriza Tony Mwaba aweze abayizi abo okudda ku massomero mu ggwanga erya Congo.

Minisita agamba nti vidiyo eraga obuseegu mu bayizi nga singa bakkiriziddwa okudda mu kibiina kyonna, kigenda kutambuza obuseegu massomero.

Wabula Minisita w’ensonga z’eddembe ly’obuntu Albert-Fabrice Puela agamba nti okuwera abayizi okudda ku massomero, kityoboola eddembe ly’abaana era bayinza okukiwakanya.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya Zimbabwe eragidde abakozi ba Gavumenti bonna okwegemesa Covid-19 oba okulekulira ku mirimu ate mu bwangu.

Okusinzira ku Minisita w’amawulire Ziyambi Ziyambi, wakati mu kulwanyisa Covid-19 okusasaana, abakozi ba Gavumenti bonna balina okwegema.

Minisita Ziyambi agamba nti abakozi bonna, abataagala gemesebwa, balina okulekulira.

Gye buvuddeko, Gavumenti yalagira amasinzizo ssaako ne Resitolanti,  nti abantu bokka abagemesebwa, bebalina okwetaba mu kusaba ssaako n’okuyingira mu Resitolanti, nga balina okusooka okulaga ebiwandiiko, ebiraga baagemeddwa.

Mu kiseera kino mu Africa yonna, abantu 3 ku 100, bagemeddwa kyokka tewali nsi yonna mu Africa, yayisizza tteka, nga kyabuwaze buli muntu yenna ogemesebwa.

Ate mu ggwanga erya Guinea, Lt Col Mamady Doumbouya eyakulembeddemu okuwamba obuyinza, ayimbudde abamu ku basibe.
Abasibe 80 bayimbuddwa kubigambibwa baakwatibwa lwa byabufuzi.
Mu kiseera kino ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu ggwanga lyonna, okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula ebyokwerinda.
Alpha Condé myaka 83 eyabadde mu ntebe mu kiseera kino tamanyikiddwako gy’ali kuba kati musibe.
Lt Col Doumbouya agamba nti obuli bw’enguzi obusukkiridde n’okudobonkanya ebyenfuna, y’emu ku nsonga lwaki baavuddeyo okutaasa eggwanga.