Angel Candy Kwakunda ayongedde okulaga nti ye ali mu laavu ne kabiite we omugagga we Masaka Lwasa Emmanuel era abantu balina eddembe okutambuza ebigambo byabwe.
Kigambibwa Lwasa alina abakyala abalala ssaako n’abaana abakulu kyokka ng’omusajja omulala yenna, yafuna omukyala omulala Angel, okusobola okulya obulamu.

Mu bitundu bye Masaka, y’omu ku basajja abalina ku ssente era mu kulonda okuwedde ogwa 2021, yavuganya ku kya meeya w’ekibuga Masaka kyokka yawangulwa Munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) Florence Namayanja.
Angel asobodde okweyambisa omukutu ogwa TikTok, okulaga nti ye ali mu laavu ne Lwasa era tewali mu kiseera kino kiyinza kwekiika mu kkubo lyabwe.

Okulaga nti omukwano guli mu ggiya nnene, Angel asobodde okuyimba akayimba k’omuyimbi Lydia Jazmine akapya ‘Kapeesa’, okulaga omukwano gwe eri Lwasa.
Oluyimba lugamba nti, “Ettaka kw’olinnya balikolemu emmumbwa, Nsaba balikolemu emmumbwa, Nuunengako nneme ozunga nze Nneme odaaga. Mpozzi nekirala baby nayize oyimba, Nze bwe nkusubwa nga nnyimbawo ennyimba, Ssiba na mirembe bw’onyiiga, bw’onyiiga, Ggwe baakutonda nkwagale, Nkwagale nze nkwagale kati ndeka nkwagale, Nkwagale nze nkwagale babe“.
Mungeri y’emu mu luyimba Jazmine agamba nti, “Kirabika olina akapeesa, Olina Akapeesa, Olina akapeesa eyo, Ggwe buli lw’onyiga kapeesa, Ng’onyize akapeesa, Nze ne nfeesa eno, Olina akapeesa, Olina akapeesa, Olina akapeesa eyo, Ggwe buli lw’onyiga kapeesa Ng’onyize akapeesa, Nze ne nfeesa eno“.
Oluvanyuma lwa Jazmine okuteeka vidiyo ya Angel ku mukutu gwe ogwa Instagram, muyimbi munne Chozen Blood naye avuddeyo okusiima vidiyo.
Chozen agambye nti, “Interesting“, ekiraga nti naye akkiriza nti ddala Angel ali mu laavu ne Lwasa.
Mu Uganda, Jazmine y’omu ku bakyala abakoze obulungi mu kisaawe ky’okuyimba era asobodde okuwangula ‘Award’ ez’enjawulo mu ggwanga.
Alina ennyimba ez’enjawulo omuli Masuuka, Omalawo, Ebintu Byange, Olindaki, Wankolera, Onanagiza, Nkubanja n’endala.
Ate Chozen naye alina ennyimba ezenjawulo omuli Sharp Shooter, Obuwala, Byakyalo, Nalozako n’endala.
Waliwo amawulire agaali gatambuzibwa nti Chozen ali mu laavu ne muyimbi munne Winnie Nwagi wabula ye yavaayo nagamba nti Nwagi mukwano gwe nnyo.
Vidiyo
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580